TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Atandika bizinensi tosooka kulowooza ku bungi bwa ssente'

'Atandika bizinensi tosooka kulowooza ku bungi bwa ssente'

Added 15th April 2015

ABAVUBUKA bazze mu bungi mu musomo gwa PAKASA ogwategekeddwa kkampuni ya Vision Group ku ssomero lya Kampala Parents P/S e Naggulu ku Lwomukaaga okusomesebwa ku ngeri y’okutereka, okutandika bizinensi n’okuziddukanya.

Bya HERBERT MUSOKE

ABAVUBUKA bazze mu bungi mu musomo gwa PAKASA ogwategekeddwa kkampuni ya Vision Group ku ssomero lya Kampala Parents P/S e Naggulu ku Lwomukaaga okusomesebwa ku ngeri y’okutereka, okutandika bizinensi n’okuziddukanya.

Okusinziira ku akulira kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde olupapula, Robert Kabushenga, omusomo guno gwagobereddwaamu okuyamba abavubuka okubawa obukodyo obw’enjawulo okwetandikirawo emirimu mu kifo ky’okuginoonya okulwanyisa ebbula lyagyo mu ggwanga naddala mu basomye.

Omusomo guno ogwayogereddwaamu aboogezi ab’enjawulo omuli: Akulira CIPLA Quality Chemicals Emmanuel Katongole, Muky. Janefrances Nakato owa Kinder Kare Schools, Steven Ssebunnya owa PINK Foods Industries, Nulu Naluyombya owa Success Chapter ne Solomon King Benge owa Fundi Bots akola Loboti.

Abamu ku bavubuka abeeyiye mu musomo gwa Pakasa e Nagulu.

TANDIKA NE SSENTE Z’OLINA

  • Emmanuel Katongole owa kkampuni ya Quality Chemicals akubirizza abavubuka bulijjo obutakulembeza ssente bwe baba nga baagala okutandikawo bizinensi yonna.

Abavubuka bangi balemererwa okubaako kye batandika olw’okulowooleza mu ssente ez’entandikwa. Kino kikyamu kuba ne bw’obeera n’obukadde nga tomanyi ky’olina kubukozesa bugenda kusaanawo.

  • Kirungi n’otandika n’ekirowoozo, n’okola okunoonyereza okumala ku ngeri gy’osobola okukissa mu nkola n’okukikulaakulanya olwo ogenda kusobola bulungi okutandika nga ky’otandika okimanyi.
  • Tandika bizinensi egenda okuwangaala, olina okutandika bizinensi erina ekizibu ky’emalawo olwo ofune bakasitoma era fuba okulaba ng’okola bizinensi eteriimu bantu bangi oba etakolebwangako. Jjukira ebintu ebinene era eby’amaanyi bikolebwa bumalirivu n’okuvumbula.

Olw’okuba nti okutandika bizinensi kyetaagisa ssente eziwera, abantu bangi zibalemerera nga mulina kwegatta okusobola okufuna ssente ze mwetaaga era naffe twegatta okutandika kkampuni yaffe eya Quality Chemicals.

Wabula mulina okwesigang’ana n’okufuna okusoomoozebwa kwammwe ng’omukisa okugenda mu maaso n’okuyiiya ennyo okulaba nga mwongera okunyweza kkampuni yammwe.

Mukimanye nti buli omu alina amaanyi n’obunafu bwe wabula mufube okulaba nga buli omu akola ky’asobola.

Fuba okulaba ng’abantu bonna abaakubeererawo mu kiseera ky’obwetaavu ng’otandika bizinensi yo tobeerabira era obasiima kuba oyinza okuddamu okubeetaaga.

Kozesa buli mukisa okutunda bizinensi yo n’ebyamaguzi by’ofulumya.

Totya kwewola kuba bbanka zirina ssente eziterekebwayo nga zirindirira bantu abasobola okuzeewola bazikozese, wabula olina okubeera n’enkola gy’ogoberera okuzikozesa obulungi.

Kkampuni yaffe ezze efuna obuwanguzi obw’enjawulo okugeza mu kiseera kino yaweebwa olukusa okukola eddagala eriweweeza ku kawuka ka siriimu n’erijjanjaba omusujja gw’ensiri.

NULU NALUYOMBYA OWA SUCCESS CHAPTER ERA OMUWANDIISI W’EBITABO
Ono muwandiisi wa bitabo agamba nti:

  • Abavubuka basaana okubeera abamalirivu okusobola okubaako kye bakola n’okwekulaakulanya.
  • Singa obeera n’ekirowoozo tandikirawo kuba tewali kiseera kituufu ky’olina okutandikirako.
  • Totya bigambo bya bantu kuba ggwe wekka ategeera embeera gy’oyitamu.

Bwosisinkana embeera y’okusoomoozebwa ng’otandise bizinensi n’egwa, toggwaamu maanyi wadde okumala ebiseera nga weekubagiza, weekung’aanye osituke buto oddemu otambuze obulamu ojja kumalako.

STEPHEN SEMBUYA MAGULU, PINK FOODS INDUSTRIES:

Kinakuwaza okuzaalibwa mu famire erimu ssente kyokka ggwe n’omaliriza ng’oli mwavu olw’obutaba na kye wakola okuzikuuma.

  • Wadde ozaaliddwa mu bugagga, noonya engeri gy’osobola okutondawo obugagga obubwo. Kino kikwata ku buli omu.
  • Ng’omaze okumanya bizinensi gy’oyagala okukola, tuula owandiike ebintu eby’enjawulo omuli ssente ezeetaagisa, akatale k’osuubira okufuna n’ebirala era ofube okubatuukirira ssekinnoomu ng’obaguza ekirowoozo kyo.
  • Olina okubeera omujagujagu okutuuka ku muntu gw’oyagala kuba ayinza okuba nga bw’onoomusisinkana agenda kukuggulira ekkubo ly’obugagga.

Omuvubuka nga yeekubisa ekifaananyi ne Robert Kabushenga, Emmanuel Katongole,
Steven Ssebunnya, Janefrances Nakato, Nulu Naluyombya ne Solomon
King abaasomesezza mu musomo gwa Pakasa ku Kampala Parents P/S.

SOLOMON KING BENGE OWA FUNDI BOTS AKOLA ROBOTI
BULI mwana akula n’ekirooto kye. N’olwekyo kibeera kirungi okugoberera ekirooto kyo kuba kikuyamba okukola ky’osinga okwagala.

Mu buto nnayagala nnyo ebintu by’ebyuma bikalimagezi era olw’okuba nnayonoonanga buli kyakuzannyisa kye bampanga era taata n’agaana okuddamu okubingulira, wabula nakati nkola roboti.

Ekimu ku bisobola okuyamba omuntu okukulaakulana kwe kugoberera ebirooto bye n’okulemerako kuba bw’okola ekintu ng’okyagala okikola n’omutima gumu n’obumalirivu bwonna.

ROBERT KABUSHENGA, AKULIRA KKAMPUNI YA VISIONGROUP:

  • Tomalira ssente mu zzaala.
  • Mwewale okusika mugwa ne bazadde bammwe wabula mukozese engeri ennung’amu okutuuka ku nzikiriziganya.
  • Aliko waakola vvaawo mu mirembe, kuba kino kikola kinene ku biseera byo eby’omu maaso kuba oluusi gy’ovudde be babeera balina okukusemba.

JANEFRANCES NAKATO NNANNYINI KINDER KARE SCHOOLS
OMUNTU yenna okugenda mu maaso olina okukola ng’otereka ku kitono ky’olina. Nnalina ekirowoozo ky’okutandika essomero ly’abaana era okuva mu buto nga nkola mu masomero mu kyalo naddala mu luwummula oluwanvu okuva ku lwa P.7 okutuuka ku lwa S.6 era mu kiseera kino nnina amatabi ana okuli ery’e Kansanga, Bukoto, Bugoloobi, ne Kitante.

  • Funa abantu abalina kye bakwongerako kuba bano be bakuyamba mu kiseera nga tolina ssente n’okukutunda eri abantu ab’omugaso.
  • Kapito osobola okumufuna bw’otandika okutereka nga bukyali kuba ekimu ku byannyamba kwe kubeera n’enkola y’okutereka ku mulimu gye nnali nkola ne nfuna ssente ze nnatandisa essomero e Kansanga.

Okugeza singa otereka 1,000/- buli lunaku obeera oterese 30,000/- omwezi, ekitegeeza nti olusoma olw’emwezi esatu ogenda kutereka 90,000/-. Omwaka oweza 180,000/- ate owa semisita emyaka esatu obeera ne 540,000/- ate owa ttaamu 810,000/-.

  • Waliwo emiwaatwa emirala mw’osobola okufuna ssente z’okutandika bizinensi omuli Micro Finance, enkola ya Empower the Youth n’endala, kyokka tandika na kitono ng’olowooza kinene.
  • Okugenda mu misomo n’okuyiga okukuuma ebitabo bikulu.
  • Mu ngeri yonna, tolina kumala kuweza butitimbe bwa ssente kubanga kizibu okufuna ssente zonna z’oyagala era totandika bizinensi kuvuganya na muntu yenna wabula ggwe kukola ekisinga okubeera eky’omutindo abantu beesalirewo.

‘Atandika bizinensi tosooka kulowooza ku bungi bwa ssente’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...