TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Nnasoma emiko gya Yiiya Ssente ne nnima obutiko kati mbuukira waggulu'

Nnasoma emiko gya Yiiya Ssente ne nnima obutiko kati mbuukira waggulu'

Added 27th May 2015

NGA bwe bagamba nti okuyiga tekuggwaayo, ate n’atayagala kumanya tayiga, nze okulima obutiko obwembala ne mbufunamu, amagezi nagafuna mu miko gya Bukedde egya Yiiya Ssente kati mbuukira wagulu.

Bya MADINAH NALWANGA NE MARIAM KAMAKUNE

NGA bwe bagamba nti okuyiga tekuggwaayo, ate n’atayagala kumanya tayiga, nze okulima obutiko obwembala ne mbufunamu, amagezi nagafuna mu miko gya Bukedde egya Yiiya Ssente kati mbuukira wagulu.

Idd Murangira Mukebe, omutuuze ku kyalo Wabitembe - Nakyesanja, Kawanda mulimi wa butiko era musomesa wa yunivasite ya Makerere.

Agamba nti, oluvannyuma lw’okwettanira okusoma emiko gya Bukedde egikwata ku bizinensi naddala ey’okulima, yasalawo amagezi ge yafuna agasse mu nkola ng’alima obutiko okusobola okufuna ekigulira magala eddiba.

‘Nnasooka kwewuunya abantu abalimira awantu awafunda abafulumira ku muko ogwo ate ne bafunamu, nga balimira mu mikebe, ku mbalaza, oba awantu wonna awatono naye nga bw’otunuulira ekifaananyi ekikubiddwa mu butuufu nga towakana.

Oluvannyuma lw’okulaba ebintu ebyo, nnasalawo nange nfune ekintu kye nnima ekikula amangu ate kye nnalowooza nti kifuna, kwe kulima obutiko.

EKIYUMBA KYaMMALAKO 120,000/-
Ssente z’omusaala gwange ogwasooka oluvannyuma lw’okufuna ekirowoozo ekyo, nnasalawo nzisseemu ndabe bwe bitambula.

Nnasooka kuzimba kiyumba ekyammalako 120,000/-. Nnatema emiti gya kalittunsi ne nsereka ekiyumba wakati ne nteekamu emiti egyakola ng’akatandaalo okussibwa ebiswa by’obutiko, waggulu ne nteekayo amatundubaali n’ebiwempe ebiyingiza ebbugumu essaamusaamu obutiko lye bwetaaga.

ENSIGO NZIGULA MU NDEEBA
Abaabulimako bandagirira gye bagula ensigo era nagenda mu Ndeeba ewa Paul Mukasa Kigundu ate eyasooka okunjigiriza engeri gye nnyinza okugikolamu n’eroka mangu.

Nnasooka ne ngula ebiswa bya 400,000/- nga buli kiswa nnakigula ku 3,000/- era olwabigula ne mbireeta e Kawanda. Nneeyambisa amagezi okuva mu Bukedde ssaako n’agomutunzi w’ensigo ne nsimba ensigo eyo.

ENSIMBA y’obutiko
Ku biswa by’obutiko kungulu kubeerako akaveera era ng’obisibamu luwuzi (ggoozi) n’obisiba ku miti gy’osibye mu kiyumba ne birengejja.

Olwo otandika okufukirirako amazzi ku makya, emisana n’olweggulo era nga bimala ennaku musanvu okuloka.

Bukulira olunaku lumu lwokka era bw’obeera obulimye, kikutwalira emyezi ena ng’okyanoga ate nga buli lunaku okungula kuba buli kiswa kimera obutiko obusukka mu kamu.

AKATALE
Obubisi mbutunda e Kawanda n'ebitundu ebiriraanyeewo mu batuuze, nga n'obukalu mbutunda mu supamaketi ez'enjawulo, nga waliwo n’ababunoonya okubukolamu ebintu eby'omugaso nga ebizigo, sumbuusa, keeki, n'ebintu ebirala.

EBBEEYI
Buli kiswa ekikolebwa kivaamu gulaamu 200 ez'obutiko. Kkiro y'obubisi egula 10,000/-, ate obukalu 20,000/- nga gulaamu 100 za 1,000/-.

BY’AFUNYEEMU
Mukeba agamba nti, abufunyeemu kuba takyakaluubirirwa kulabirira waka. Aweereddemu abaana.
Afunye kapito amutuusizza ku bizinensi endala z’akola ng’okugula ebyuma ebikola bagiya ne kapito w’okulima endokwa. Alabirira bakadde be.

Nnasoma emiko gya Yiiya Ssente ne nnima obutiko kati mbuukira waggulu’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...