TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Yiga bwe bakola ebizigo mu bikolokomba n'ebiwata

Yiga bwe bakola ebizigo mu bikolokomba n'ebiwata

Added 14th October 2015

Godfrey Kakembo muzira wa ggwanga. Omudaali gwe yagufuna mu June wa 2013 ng’eggwanga limwebaza okulirwanirira

 Bya HAFSWA NANKANJA

Godfrey Kakembo muzira wa ggwanga. Omudaali gwe yagufuna mu June wa 2013 ng’eggwanga limwebaza okulirwanirira.

Kakembo omutuuze w’e Mugongo zooni A e Kyengera, y’omu ku baazirwanako.

Agamba nti yayingira obuyeekera ku myaka 14, era y’omu ku baasiba omugga Katonga nga bagenda okuwamba Gavumenti mu 1986.

Amagye yagawummula mu 1994 naye n’abakana n’olutalo olulala, olw’okulwanyisa obwavu era alulinnye ku nfeete. Anyumya: Nnasuubula  ku byennyanja, nnafumba ku walagi, emmwaanyi  nzisuubbuddeko, nkoze ne ku dduuka lya cakalacakala naye byonna mbadde mpadaawadako buwaziiwazi. 

Nnakolako ne bbekeeri y’emigaati, naye omwo abantu abakyamu bansuuliramu akawanga n’empitambi ne mbivaako!  Bwe nnajja mu Kampala okukimira abantu amazzi wamu n’okukuba bbulooka kwe kulaba abatembeeya ebizigo ne mbeebuuzaako.  Nnali ntereseewo emitwalo 73 mu mazzi ne bbulooka era ze zaatandika bizinensi y’ebizigo nga 20 October 2007.

NTANDIKA EBIZIGO

Nga sinnakola bizigo, nnasookera ku ssabbuuni nga muggya mu nsigo za ovakkedo. Ono nnakizuula nti agoba endwadde z’ensusu naddala mu baana.  Nga wayise omwaka gumu nnazuula ekyama ekirala mu bikongoliro bya kasooli n’ebikolokomba by’amatooke. Bino mbikolamu ebizigo ebiwonya endwadde z’ensusu.

Kakembo y’ani?

Nzaalibwa abagenzi Jesper Batte eyali omujaasi ne Aisha Nabbowa abaafiira mu lutalo e Luweero. Nasomako e Kiwoko P/S  e Nakaseke naye mu P3 mu 1981, emmundu n’etandika okuseka olw’olutalo olwali lubaluseewo.

Twava okusoma bbomu n’ekuba emmotoka we twali ffenna ne tusaasaana era eka tetwatuuka. Twadduka kiwalazima okutuuka ku mutala Bendegere okumpi n’e Kasambya.

Nnayingira amagye ku myaka 14. Ffe twasiba Katonga ne tugenda e Nabyewanga, Lwera, Kaabasanda, Mpigi, Kampala okutuuka e Sudan ku bigere.

Amagye nnagavaamu mu April wa 1994 ne nzira e Kiwoko mu Luweero ewa kitange.  We nnabinnyukira nga nsigazza engalo mukaaga zokka, endala amasasi gaali gaazikutulako. 

Mu 1993, Pulezidenti bwe yatusisinkana mu Lubiri yansuubiza okundiyirira ssente za kitange kyokka ne ku ssaawa ya leero be yalagira okunkolako bansaba empapula naye tebanzirangamu! 

1.  Funa ebikolokomba n’ebikongoliro obyanike mu kassana bikale bulungi. Bisaleesale osekulemu  ensaano. 

2. Funa ebizigo bye batunda mu kibuga ebyeru ebitaliimu wadde kirungo kyonna.

3. Biteeke mu sseppiki etukula obulungi obisaanuuse ku muliro byete bulungi oluvannyuma oleete ensaano yo ogigattemu. 

4. Mu kkiro 8 ez’ebizigo oteekamu tampeko y’ensaano emu yokka era obitabule bulungi byetabule mu bizigo.

5. Oluvannyuma lw’eddakiika nga 20-25, biggyeeko obiteeke wansi. Bibalire eddakiika ttaano zokka obisengejjere mu ntamu endala etukula ng’okozesa akagoye akasobola okuggyamu ebisejja by’ensaano eri gye wataddemu.

6. Bwe wayitawo eddakiika 15, gattamu tampeko bbiri eza woyiro agonza ebizigo otabule bulungi. Gattamu langi yonna gy’oyagala ebizigo bireme kubeera bya kitaka oba ebiddugavu ennyo.  

7. Teekamu akawoowo akasaamusaamu akatakaalaamuka nnyo. Bitabule byonna bibulire mu bizigo. 

8. Bwe biba ng’ebiwola kyokka nga tebinnaba kwekwata, tandika okubisenamu nga bw’opaakinga mu bikebe. 

Buli kkiro y’ebizigo ebyeru ngigul 8,500/-. Buli wiiki nfumba kkiro 8-9 ez’ebizigo. 

8x8500/- = 68,000/-

Ebirungo ebirala byonna bya 10,000/- zonna awamu ze nkozesa wiiki ziba mu 80,000/- zokka. 

Buli kakebe akatono ak’ebizigo nkatunda 1,500/-, akaddirira ka 2,000/-, 3,500/- ne 6,000/-.

Buli kkiro emu ey’ebizigo ngiggyamu obukebe bw’ebizigo obutono 20. Kitegeeza nti mu kkiro 8 nja kuggyamu obukebe 160 obukebe obutono.

Kwe kugamba 80,000/- ze nsaasaanya ku byetaago nfunamu  240,000/-, olwo ne mba nga nkoze amagoba ga 160,000/-.  Ku zino kwe nsasula abakozi bange 17 be nnina.

Nkola n’obuugi obwa ssoya kubanga nnakimanya nti okwongera omutindo ku birime ensi gy’etutwala.

Yiga bwe bakola ebizigo mu bikolokomba n’ebiwata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...