TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Abakyala abakola engatto n'ennoni balaga bwe zibagobyeko obwavu

Abakyala abakola engatto n'ennoni balaga bwe zibagobyeko obwavu

Added 22nd June 2016

BANNAYUGANDA bangi kati bakolerera kwegobako bwavu. Bakola emirimu mingi egy’obwongo n’ebyemikono nga byetaaga entandikwa ntono kyokka nga bafunamu ekiwera.

 Abakyala nga bakola ennoni

Abakyala nga bakola ennoni

Bya MADINAH SEBYALA

BANNAYUGANDA bangi kati bakolerera kwegobako bwavu. Bakola emirimu mingi egy’obwongo n’ebyemikono nga byetaaga entandikwa ntono kyokka nga bafunamu ekiwera.

Wano abakyala n’abavubuka e Kira nga beegattira mu kibiina kyabwe ekya Elite Youth Project, Kimwanyi we baasaliddewo okukola pulojekiti omuli ey’ennoni, engatto, obulimi n’ebirala ekisitudde embeera zaabwe mu byenfuna.

Baatandika ne kapito wa 3,500,000/- wabula nga kati bali mu bukadde 20 mu bizinensi zonna. Entandikwa y’ekibiina Akulira ekibiina kino, muky. Margaret Ssekanjako agamba nti: “Engeri gye nnali ndudde mu byobufuzi, nakola omulimu mu bakyala n’abavubuka ne beekolamu ekibiina ne tukiwandiisa ng’eky’obwannakyewa ekiyamba ekitundu (CBO).

 
Abamu ku bammemba ba Elite nga balaga engatto ze bakola, ez’amasomero n’ez’ekisaazi.

 

Abantu si bangu okumatiza kuba bangi baagala kufunirawo. Twatandika ne bammemba bataano abeerondamu ssentebe, omuwanika, omuwandiisi n’avunaanyizibwa ku mutindo, ow’okugula n’okusaasaanya pokopoko ku bye tutunda.

Twakkaanya ku pulojekiti y’okukola engatto, okutunga ensawo z’abaana abasoma, emitto gya pikipiki n’okukola ennoni kyokka nga tetulina kapito. Mu kulowooza ennyo, mmemba omu yalina ettaka ne tukkaanya okulima tukwongere ku pulojekiti tusobole okufuna kapito.

Twalima yiika za kasooli ssatu ne tumutunda mubisi n’avaamu 3,500,000/- nga zino ze zaakola ng’entandikwa y’ebirala. Ku zino twagulako ebikozesebwa mu kukola engatto, okwali ebyalaani n’okupangisa abasomesa era tebyatusala.

PULOJEKITI ZE TUKOLA OKULIMA : Buli sizoni tufuba okulima kasooli. Ng’ameze bammemba ffenna twenyigira mu kumulabirira ng’okumuttira, okukoola n’ebirala.

Ffe kasooli waffe tumutunda mubisi olw’okuba akatale kabaawo engeri gye tukeera okusimba nga buli munwe tugutunda wakati wa 300/- ne 400/-.

Kino mu mwaka tukikola emirundi ebiri era buli lwe tuzifuna tuzongera mu bizinensi ng’okugula ebyalaani n’ebirala. Okutunga n’okukola engatto Tutunga engatto z’abaana b’amasomero n’ez’abakulu. Zino abavubuka be basinga okuzeenyigiramu.

Avunaanyizibwa ku mutindo gwazo, Brian Ssekiziyivu agamba nti, “Tulina buli kyalaani ekyetaagisa mu kukola engatto. Tulina ekyalaani ekitunga, ekiwawula engatto oba mota, ekinyigako soole, ekibugumya.

Tugula amaliba n’ebirala byonna. Olunaku tusobola okukola emigogo gy’engatto 12 okusinziira ku bunene bwaffe. Zino tuzitunda wakati wa 30,000/- ne 50,000/-.

Ebyetaagisa okukola engatto :

l Obwambe obweyambisibwa mu kukomola n’okusala ebikozesebwa ku ngatto. l Magalo ezireega engatto n’okukubamu obusumaali. l Oluwawu oluyamba okuyooyoota engatto n’esobola okwekwata obulungi ng’ossaamu amasanda. l Wuzi eziyamba okutunga. l Ebigere ebipima akatiba k’engatto.

Amaliba ge bakolamu engatto. l Punch eyamba okukubamu obutuli ku ngatto ez’obugwa. l Soole n’ebirala.

Ebyalaani eby’enjawulo. Okukola ennoni: Pulojekiti eno esinga kukolebwa bakyala. Lydia Kizza asinga nga y’omu ku bettanira okukola ennoni agamba nti, zibaliisa nga mulimi kubanga akatale kaabuliwo. “Bwe nakunganya ssente mu kulima nga mpita mu kibiina, nze nalimira lumonde ne kasooli ku ttaka lyange nga nnyambibwako ekibiina. Mu sizoni bbiri nafuna 1,500,000/- ne ntandika. Ebyetaagisa mu kukol a ennoni l Akatiba akakuba ennoni.

Obuwunga bw’ennoni.

Ebbinika mw’otabulira obuwunga bw’ennoni. l Amafuta ne butto. l Amazzi g’otabuza obuwunga bw’ennoni.

Akaveera kw’oyiwa ennoni eziwedde okukolebwa zikale.

Obupaketi mw’ozitundira oba obuveera mw’ozisiba. Buli kkiro ya buwunga evaamu ennoni 200. Buli nnoni 100 tuzitunda 3,500/-. Ng’ekibiina buli wiiki tusobola okutereka 100,000/- ate endala ne tuzikozesa okwegobako obwavu mu maka gaffe.

Kansala Margaret Ssekanjako eyateekateeka abavubuka n’abakyala okukola ekibiina nga batandikira mu kulima ku ttaka lye mwe baafuna kapito.

 

OKUFUUKA MMEMBA tuwandiisa abakyala n’abavubuka okutandikira ku myaka 18. Buli mmemba ayingira ne yeesalirawo ky’ayagaya okukola, abamu bakola nnoni, abalima n’abakola engatto. Waliwo abayingira nga balina ssente ne bayamba okutambuza emirimu gy’ekibiina so nga n’abatalina basobola okukola emirimu egitumbula ekibiina ng’okulanga bye tukola.

Akatale Ssekanjako agamba nti, akatale basinga kukanoonyeza mu masomero nga bayita mu basomesa abaagazisa abazadde engatto zaabwe ku ssomero ne bazifuula yunifoomu z’abaana.

Ensawo nazo ab’amasomero bakola wooda ze tutunga nga kuliko amannya g’abayizi. Tulina n’amaduuka e Kyaliwajjala - Kireka n’ebifo ebirala.

N’ennoni era tuzitunda ku masomero.

Okusoomoozebwa

Akatale kakyali kafunda twetaaga okumanyibwa mu bitundu eby’enjawulo.

Bbeeyi y’ebikola engatto eri waggulu.

Amasannyalaze gagenda mangi ku byalaani ekirinnyisa bbeeyi yaago mu nsasula.

Engeri gye tuzaaza ssente mu kibiina Buli ngatto ze tukola amagoba tugatereka ku akawunti.

Bwe tumala okusasula bannakibiina ezisigalawo tuzitereka ne tuzikozesa ssinga ezimu ku pulojekiti zeetaaga okussaamu ku ssente.

Wano tukikola mu kugiwola ne tuddizaamu amagoba amatonotono olw’obulungi bw’ekibiina.

Tusobodde okutuukirira kkampuni ennene ne zituwa obuyambi kuba ekibiina twakiwandiisa.

 

Bye tufunye

Tusobodde okufuna akatale ak’amangu.

Engeri gye twawandiisa ekibiina kyaffe, twasobodde okusaka obuyambi, nga mu kino aba NSSF baatutonedde ebyalaani bisatu (3) ebibalirirwaamu obukadde 15.

Tusobodde okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu bammemba. Kati tuweza bammemba 50.

Bafune ku nnamba ya ssimu: 0704383872.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...