TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Bugisu Cooperative Union eraze ebibiina by'obwegassi bwe biddukanyizibwa

Bugisu Cooperative Union eraze ebibiina by'obwegassi bwe biddukanyizibwa

Added 9th September 2016

Bugisu Cooperative Union eraze ebibiina by’obwegassi bwe biddukanyizibwa

 John Musira

John Musira

BANNAYUGANDA bamanyi entalo za Bugisu Cooperative Union (BCU) z’erwana ne Gavumenti, wabula kye basaanye okumanya nti tetandise ku mulembe gwa NRM, wabula dda okuva ku mulembe gw’abafuzi b’amatwale.

Abagisu bamanyiddwa okwogera bye bawulira ku mutima, olowooza batandise kati okuva ku mulembe gw’Abazungu nga nagwo baguwakanya, ne bwe kyali nga Museveni tannabayingizaamu mutima gwa kuguguba n’oluvannyuma n’agutwala mu b’e Luweero.

Emmwaanyi za Arabica zaasooka okulimwa e Buwalasi, mu bikko by’olusozi Masaba mu 1912 n’oluvannyuma ne zituuka mu bitundu ebirala okuli Bugisu ne Sebei olw’eddekende n’akawoowo akava mu mmwaanyi zino.

Mu mbeera eno mwe mwava ekibiina kya Bugisu Cooperative Union nga September 23, 1954 era luno buli mwaka balulinda nga mbaga, nga si kutunda na kugula mmwaanyi kyokka, wabula n’okwongera okutumbula okuzirima.

Ekimu ku byuma bya BCU ekisunsula emmwaanyi.

Naye tekyali kyangu mu kutandika, Abagisu baali bamaze okukiraba nti emmwaanyi zikola amagoba kale nga tebaagala kuziguza Bazungu nga baagala kuzeetundira ku lwabwe. Abazungu baali balowooza nti Abagisu basaaga, era musajjamukulu Kitutu, omu ku bammemba abaali ab’ekibiina ajjukira Abagisu lwe baagaana okukoola emisiri gyabwe egy’emmwaanyi ne gizikira mu nsiko nga bagamba kazireme kubala babulwe kye banoga olwo balabe Abazungu kye banaabapeeka okubaguza! John Musira, omumyuka wa Ssentebe w’ekibiina kino agamba nti, waliwo ebifo bina ebigulibwamu okuli Bubulo, Nampanga, Buyaga ne Nakiwondye .

Ebyobufuzi by’ensi bano baabigoba mu kibiina, wabula boogera kimu byabufuzi bya mmwaanyi, kino kyeraga lwatu ku Musira owa NRM kakongoliro ng’amyuka Nandala Mafabi ate owa FDC, era kino bakyogera lunye ne mu maaso ga Pulezidenti.

Mu myaka gya 1950, BCU kye kibiina ekyali kyogerwako okuba ng’ekisinga amaanyi mu Uganda kuba kyali kye kisinga ettaka n’ebizimbe mu Mbale, wadde ng’ebimu ku bintu bino bbanka zaabitwala olw’amabanja kyokka era yasigazaawo ebitono.

Bugisu eyise mu bizibu ebitali bimu, eyakuliranga ekibiina kyabwe nga bamuteekako ekitiibwa kya pulezidenti, mu gya 1970 ku mulembe gwa Amin kwaliko Pulezidenti Musundi, kino Amin bwe yakiwulira nti e Mbale waliyo pulezidenti omulala ng’ate yali akimanyi nti y’alina okuba pulezidenti yekka mu Uganda, yalagira okumukwata, era okuyita akulira ekibiina ky’obwegassi pulezidenti e Mbale n’ebitundu ebirala kyakoma ku mulembe gwa Amin.

Ekizimbe ku Republic Street e Mbale ekyazimbibwa aba BCU.

Wadde gwali gutyo, naye era BCU teyasumattuka busungu bwa Amin, yagenda mu maaso n’okutulugunya abakulembeze baayo ng’akiraba ng’ekiyinza okuvaamu obulabe eri omulembe gwe olw’okubaawo kw’ekibiina eky’amaanyi ate nga kirina ensimbi.

Baanyigirizibwa nnyo ku katuubagiro Bugisu Cooperative Union eraze ebibiina by’obwegassi bwe biddukanyizibwa k’ebyenfuna akaaliwo ku mulembe gwa Amin, kuba emmwaanyi za Uganda zaawerebwa ku katale k’ensi yonna, ekyavaako ekibiina okufiirwa olwo ate amagendo ne gatandika byonna byakosa ekibiina.

Era wano Bannakenya be baasinga okufunamu kubanga be baatundanga emmwaanyi za Uganda, ne bateeka ne ssente mu bbanka n’ebyentambula. Ebigambo by’entalo byagenda mu maaso n’okukosa ekibiina, ate Gavumenti bwe yata ebyenfuna ate bammemba ab’amaanyi okugeza nga James Musira ne batandika okwetundira emmwaanyi zaabwe.

Musira agamba nti, bw’otatunda mu kibiina nga basasulirawo ng’ate temuli kwetooloola ku bakungu banjawulo nga mu kibiina, awo nga siraba nsonga ensiba ku kibiina gye bagula ebbanja ate okusasula badda mu bya laba ono, oli n’oli! Kino Musira akikkiriza, wabula agamba nti, Gavumenti yeerabira nti ebibiina byali byokka mu katale, ng’okuta abantu abalala okutandika okugula emmwaanyi kyali kyetaaga okusooka okwogeraganya n’ebibiina ne bimanya engeri gye bigenda okwetegekera embeera eno oba oli awo bandiguze ne ssente z’obuliwo.

Kaawa aba BCU gwe beekolera ayitibwa Elgon Pride Coffee.

Era wakati wa 1994 okutuuka 2007, emirimu egyali gikolebwa mu kibiina gyali mitono ddala, ebyuma ebimu byafa, kale ng’ekibiina kitubidde mu bizibu by’enguzi, amabanja n’okukozesa obubi ofiisi. Okulondebwa kwa Mafabi mu 2008 nga Ssentebe w’olukiiko oluddukanya ekibiina, kyayambako okukizuukiza.

“Mu kiseera ekyo, twasobola okusasula ku mabanja, ne tuteekako ssente ku akawunti zaffe ekyali kyakoma mu 1994, kuno kwonna kwali kulafuubana kwa Mafabi,’ Polly Mugoya, Ssentebe w’akakiiko k’abakadde bw’agamba. Wabula ate obukulembeze bwa Mafabi bwaggyamu omukoosi bwe baatandika okumulumiriza nti yali akozesa bubi ssente z’ekibiina, wano we waqva olutalo lwe ne Gavumenti.

Kino okubaawo yali amaze emyaka ebiri mu ntebe. William Wabulo, akulira ebifulumizibwa mu BCU, agamba kino kyakosa nnyo abalimi nga balaba omununuzi waabwe ate embeera emuddugalidde.

Mugoya ayongerako nti, Abagisu baagaana okupondooka era mu 2014 yakulembera ekibinja ky’abantu 30 ekyagenda ne kisisinkana pulezidenti Museveni, ne bamunnyonnyola nti mu BCU temuli byabufuzi wabula okukulaakulanya abantu. Kino pulezidenti yakitegeera, embeera n’edda mu nteeko era ebintu kati bitambula bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...