TOP

Engeri gy'okwata kasitoma n'okola ssente mu Ssekukkulu

Added 14th December 2016

Abasuubuzi abamanyi okukwata bakasitoma bizinensi zaabwe zifuna n’okukula mu bwangu okusinga abatafaayo ku baguzi baabwe.

 Om ukyala mu katale ka Park yard ng’ayamba kasitoma okukebera olugoye.

Om ukyala mu katale ka Park yard ng’ayamba kasitoma okukebera olugoye.

Bya OLIVE LWANGA

ENKWATA ya bakasitoma emu ku ngeri ezikuyamba okukuza bizinensi yo ng’okola ssente naddala mu kiseera kino eky’ennaku enkulu.

Abasuubuzi abamanyi okukwata bakasitoma bizinensi zaabwe zifuna n’okukula mu bwangu okusinga abatafaayo ku baguzi baabwe.

James Kayondo, omukugu mu byenfuna okuva mu Niik Development Consults Ltd, alaga engeri gy’osobola okukwata kasitoma n’akugulako ate n’adda olulala wadde ekintu takyetaaga nnyo.

Muno mulimu:

  • Omusuubuzi olina okubeera n’akamwenyumwenyu ku matama ng’oyogera ne kasitoma.
  • Okufuna by’obasibiramu bye baguze.
  • Okubawuliriza nga baliko kye bakubuuza oba okukugamba ku byamaguzi byo.
  • We kisobose okubasitulirako.
  • Okubannyonnyola enkola n’enkozesa y’ekintu naddala ky’abeera tamanyi.
  • Okukakasa omutindo gw’ebyo by’otunda.
  • Okubaddiza mu ngeri y’ennyongeza oba obulabo obwa kasendabaguzi n’ebirala. Bino byonna bitondawo omukwano n’enkolagana y’obuntu wakati wo n’omuntu akugulako ekigenda okukuyamba okumanya bakasitoma bo bye baagala n’engeri gy’osobola okuyamba bizinensi yo okukula.
Arthur Waiswa ow’e Nsambya (ku kkono) ng’annyonnyola kasitoma ku bifaananyi by’asiiga.

 

EBIRUNGI BY’OKUKWATA OBULUNGI KASITOMA

Kayondo agamba nti, okufaayo ku bakasitoma kikuyamba mu ngeri nnyingi omuli:

1 Kiyamba okukuuma bakasitoma. Mu butonde, ssinga kasitoma asiima empeereza yo, aba ajja kudda omulundi omulala era aba tasobola kugenda kugula ku mulala gw’ovuganya nabo. Kino kyongera ku bizinensi kuba okusigaza bakasitoma kya layisi okusinga okufuna abapya.

2 Kiyamba okutunda erinnya lyo awalala (okukusemba). Ssinga ofaawo ku bakasitooma, bakasitoma bo babeera basobola okukwogerako mu bantu abalala ekikuyamba okuleeta abalala nabo bakakase. Gye bakoma okukwogerako obulungi naawe gy’okoma okufuna bakasitooma mu bizinensi yo ate nga totaddeemu wadde ennusu okubanoonya.

3 Kitondawo ekigambo ky’omumwa. Ssinga obeera oweereza bulungi bakasitooma bo ng’obafaako balungi bafuna ebigambo bye bakwogerako era ne bwe babeera batambudde asobola okubuulira omuntu omulala ku mpeereza yo naddala ssinga emboozi gye babadde banyumya yeekuusa ku ky’okola oba ky’otunda.

4 Kyongeza ku magoba ga bizinensi. Ssinga empeereza yo ebeera nnungi, ebigambo ebibeera bikwogerwako ku bizinensi yo biba birungi n’abakusemba nga bangi oba ojja kufuna bakasitooma abapya abakuwagira okusinga nga bw’obadde emabega. Bizinensi ezisinga obungi okufuna bakasitoma bayita mu kulanga oba okukola pulomosoni ezitali zimu naye bizinensi bw’eba efaayo ku bakasitooma amagoba gonna gajja olw’ebyo byonna.

5 Kiwa nnannyini bizinensi n’abakozi okwekkiririzaamu. Buli kasitoma lw’awaana bizinensi yo, kizzaamu omukozi wo amaanyi. Mu butonde, okumala akaseera, okwekkiririzaamu kulinnyisa bizinensi era n’omanya nti okufaayo ku bakasitoma kisumuluzo kikulu okuzimba okwekkiriza mu bakasitoma bo b’onoozimba okusobola okukuuma bakasitooma nga basanyufu. Ne bakasitoma bo ab’omunda basigala basanyufu.

6 Kireetawo embeera y’okukoleramu ennungi. Buli lw’osanyusa abakozi nabo bajja kuweereza bulungi bakasitooma bizinensi yonna efuuke ekifo eky’okuddukanyizamu ebyamaguzi eky’essanyu. Kubanga buli muntu abeera amanyi kiki ky’alina okukola okulaba nga kasitoma agenda musanyufu.

7 Kikuwa enkizo ku balala: Okufaayo ku bakasitoma n’amaanyi g’oteekamu n’abantu b’okozesa bikufuula wa nkizo ku balala. Ssinga abakozi bo baba bazimba enkolagana ennungi ne bakasitoma, olwo bajja kuba tebasobola kukkiriza gw’ovuganya naye kuyingira mu bizinensi yo. Oluvannyuma bizinensi yo ebeera tenyenyezebwa era teba ya kuvaawo, tevuganyizibwa era nga nzibu ya kutaataaganya, oba okugisuula n’okugisinga.

8 By’otunda byeyongera. Buli lw’ofaayo ku bakasitoma, omu bw’agenda nga musanyufu bw’alaba munne ng’ayagala kugula kintu kye kimu n’ekikye amulagirira awo awali abafaayo ku bakasitoma. Kino kiwaliriza ebintu by’otunda okweyongera okutambula nga babinoonya.

9 Kikuyamba okutereeza mu mpereeza yo. Buli lw’olaba ng’abalala b’ovuganya nabo babalekawo ne bajja ewuwo bw’onoonyereza n’omanya ensonga ggwe kikuyamba okwongera ku mutindo n’okweyongera okufaayo ku bakasitoma bo.

10 Kikuyamba okumanya ekitambula mu kiseera ekyo era nga kino okimanya okuva mu bakasitoma bo bye bakubuulira.

11 Kikuyamba okutereeza. Ebiseera ebisinga omuntu bw’oba obadde omufaako bulungi ng’azze ku mulimu gwo, amanya nti oli munne era bw’aba alina ekintu kyonna ekikyamu aba tatya kukugamba akikubuulira era naawe n’okyusa okusobola okumusanyusa n’abalala okutwalira awamu.

12 Kiyamba okumanya abantu bo kye baagala era n’okibatuusaako mu kiseera ekituufu. Omuntu bw’agula ekintu osobola okumubuuza ky’agenda okukikozesa kuba si buli agula ejjambiya nti aba agenda kutema miti, waliwo abagikozesa mu ngeri endala, naye omubuuza ky’agenda okukozesa ekintu ekyo ky’agula era n’omuwabula okusinziira wa we kyetaagisiza.

13 Kyongera okuzimba enkolagana ennungi wakati wa kasitoma, omukozi n’omukozesa.

Obulabe obuli mu butafaayo ku bakasitooma

  • Bakasitoma bakuddukako.
  • Oyinza okulemwa okukola ebintu ebiri ku mutindo.
  • Tosobola kumanya kitambula ate nga kiriko ssente.
  • Abantu b’ovuganya nabo basobola okukulinnyako n’okusuula bizinensi yo.
  • Ebyamaguzi byo bisobola okulwawo okutambula ne biyita ennaku n’ofiirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja ng'akutte ekyennyanja.

Abavubi e Masaka bakyasobed...

ABAVUBI ku myalo egy’enjawulo mu disitulikiti y’e Masaka batabuddwa olw’ebyennyanja ebyongera okufa ekirindi. Bano...

Abatuuze ku kyalo Kijjumba - Kabaale mu ggombolola y’e Lwanda e Rakai nga basena amazzi amacaafu.

Ab'e Rakai balaajana olw'eb...

ABANTU mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola okuli Kasaali ne Nabigasa mu disitulikiti y’e Kyotera kw’ossa n’abomu...

Omukadde ng'asembera mu kusaba e Lukaya gye buvuddeko.

Okwebuulirira mu kisiibo

Essomo I: Yona 3:1 - 10 Katonda bwe yalaba baboneredde, teyabakola kabi (Cfr. Yon. 3:10) ...

Ethel Ssekiziyivu

'Nasaba Katonda n'okusiiba ...

ETHEL Ssekiziyivu mukyala w’omusumba Rev. David Ssekiziyivu. Agamba nti waliwo embeera ezitasobola kuvaawo awatali...

'Abakulembeze abalondeddwa ...

ABAKULEMBEZE mu kkanisa ne ku buli mutendera basabiddwa okweyambisa ekiseera kino eky’okusiiba okwefumiitiriza...