TOP

Eddogo liremesezza enkulaakulana y'akatale k'e Banda

Added 30th March 2018

Emisolo n’eddogo erifumbekedde mu katale k’e Banda bigobye abasuubuzi n’okwagala okulemesa abakakoleramu ne bakuba olukung’aana okubyogerako.

 Akatale k'e Banda nga bwe kafaanana

Akatale k'e Banda nga bwe kafaanana

Bya Tonny Kayemba

 

Abasuubuzi  abakolera mu katale ka Banda Market  e Banda mu Nakawa  balaajana olw'emisolo egyabagerekerwa nnannyini katale egiri waggulu nga gibalemesezza okubaako kye beekolera ssaako eddogo lye bagamba nti lisusse mu katale kaabwe.

Abasuubuzi nga bakulembeddwa ssentebe waabwe, Abdul Rahman Rukungu  bawanjagidde gavumenti eveeyo ebataase ku misolo egyabagerekebwa nnannyini katale, Tefero Sserunjogi  gwe bagamba obutabafaako okuggyako okubanyunyunta. Bagambye  nti,  ebintu okuli : kasasiro, amasannyalaze, amazzi n'okusasulira abakuumi byonna be babyekolera.

 Baategeezezza nti, emisolo egyabateekebwako eri nnannyini katale gibasobedde kubanga buli lunaku omusuubuzi asasula 500/- nga empooza ate nga waliwo n'e nsimbi ze bapangisa emidaala nga gitandikira ku 10,000/- n'okweyongerayo ate nga mu butale bwa gavumenti abakolerayo basasula mpooza yokka. Kino bagambye nti, kibanyigiriza ekizing’amizza enkulaakulana y’akatale kaabwe akamaze emyaka egisoba mu 50.

 Bannyonnyodde nti, bakolera ku bunkenke olw’akatale okubeera ak’obwannannyini ng’essaawa yonna nnannyiniko asobola okusalawo okutunda ettaka kwe kali ne basigala mu bbanga. Basabye  Gavumenti eveeyo ebafunire ettaka we basobola okuzimba akatale bave mu mbeera ey'obunkeke gye bakolera ebalemesezza okwekulaakulanya.

Rukungu yategeezezza nti, basobola okussizaawo abasuubuzi ebibiina by’obwegassi mu katale nga gye baggulawo eya  Sanyuka ne Munno Banda Development Co-operative Savings and Credit Society Ltd nga bawola abasuubuzi ensimbi mu kaweefube w'okubongera amaanyi mu bizinensi zaabwe naye nga ne SACCO eno abasuubuzi abamu bakyagaanye okugyegattako.

Ategezezza nga bwe baakola SACCO eno oluvannyuma  lw'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okubasuubiza okubakwatirako nga balina kuyita  mu bibiina ng’ebyo  ebisobola okukulaakulanya  abasuubuzi era yasuubiza okubakyalira essaawa yonna.

 Abasuubuzi beerumirizza okweroga

Emisolo nga gikyatabudde abasubuuzi, ate Margaret Nakanjakko yalumirizza abamu ku bannaabwe okulemesa bannaabwe okukulaakulanira mu katale nga bakozesa eddogo.

Yagambye nti, emidaala mingi gikaze nga tegikyalina bagikolerako ate nga bannannyini gyo baatandika n’amaanyi kyokka kati baagisuulawo bakola birala n’abamu tebakyakola.

Bagambye tewali kitabo kitukuvu ky'oyinza kuleeta mu katale ne kikolamu ng’ogezaako okulung’amya eddiini mu katale kano kubanga eddogo lyakasaanikira.

Ssentebe w’akatale n’akulira eby'enkulaakulana mu katale kano  eby’eddogo baabitadde ku butamanya obuli mu basuubuzi nga baakifuula kikwate kubanga buli katale abasuubuzi bwe balemwa okukola nga batandika okwogera kye basanze omuli n’eddogo.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...