TOP

Yingira ebibiina ebitereka ssente okuze bizinensi yo

Added 6th September 2018

Engeri ennyangu gy'ogaziya kapito mu bizinensi yo nga teweewoze

 Nanyanzi ku mudaala gwe e Nakawa

Nanyanzi ku mudaala gwe e Nakawa

Bya SCOVIA BABIRYE

Obadde okimanyi nti osobola okufuna ssente mu kutunda ennyaanya n’obutungulu n'ogaiya ne kapito wo nga teweewoze.

Ruth Nanyanzi omutuuze w’e Naggulu nga musuubuzi mu katale e Nakawa akunnyonnyola engeri gy’akikolamu. 

Engeri gy’azimbye bizinensi ye

Okusooka nnali mpangisa, bwe nnaweza ssente ne ngula guno omudaala obukadde busatu mu 2016 naye ezaagugula zaggwaayo kuba nkola amagoba agawera.

Bwe nnali sinnagula guno omudaala natandisa kapito wa mitwalo 20 nga ntunda nnyaanya n’obummonde byokka naye bwe nagula awagazi ne nnyongeramu n’obutungulu bw’ebikoola, kaloti, bikaamulali n’ebirala.

Bakasitoma bonna mbaguza, abasuubula n’abagula ekimukimu era bano be basinga okungulako ku wiikendi ate nabo batwala bingi.

Buli mwezi nsasula 8,500/- eza KCCA, sisasula za bupangisa kuba omudaala nagugula. Nnina akawunti mu bbanka gye ntereka 70,000/- buli wiiki, buli Lwakutaano nsasula emitwalo 10 mu kibiina ate nnina n’ekibiina ekirala mwe ntwala 20,000/- buli nnaku ssatu mu wiiki.

Wiiki bw’eggwaako nga nninawo ssente eziwera akakadde awo mbeera nkoze nnyo era okwo kwe ntoola buli kimu ng’okulya kuba abampa emmere mu katale nabagamba mbasasula wiiki eggwaako wamu n’ekibiina kiri eky’emitwalo 10.

Nsuubula emirundi ebiri mu wiiki, ku Lwokubiri byonna awamu nsuubula bya 1,500,000/- ate ku Lwokutaano byonna awamu nsuubula bya 2,000,000/- kuba ku wiikendi bagula nnyo.

Ku lunaku lwe sifunye baguzi, nyinza okukola wakati wa 200,000/- ne 300,000/-, naye lwe waliyo abaguzi naddala ku wiikendi nkola wakati wa 1,200,000/- ne 1,500,000/-.

Nanyanzi ng'ali ku mudaala gw'ategese obulungi okusika bakasitoma

 

 Engeri gye nsika abaguzi

  1. Engeri gye ntegekamu omudaala gwange y’esinga okundeetera abaguzi kubanga bagulabira wala ate nguteekako ebintu ebinyirira nga bisikiriza.
  2.  Siguza bakasitoma bange bintu bivundu era ne kino mmanyi kibasika ne bakomawo.
  3. Sikaayuukira oba okuboggolera kasitoma wabula njogera bulungi naye ne bw’aba agenze olulala akomawo n’angulako.

Ssente nzikwata bulungi obutalya kapito wange. Bwe nsasula ez’ennyumba 200,000/- ku magoba era ngulako n’ebikozesebwa awaka.

Nagulayo ekibanja ate n’abaana bange mbalabirira era basoma naye nga si nze mbaweerera.

Awadde amagezi

Abantu bwe babeera baagala okukulaakulanya emirimu gyabwe bayingire ebibiina kuba ezo ssente bwe bazikuwa obeera olaba ng’abakuwadde ez’obwereere awo ky’okola ng’oyongera mu kapito. Nze ne ssente ezaagula wano nazo naziterekanga mu bibiina. Mu bibiina ofunamu kuba zibeera tezisobola kukema nti ozirye naye bw’obeera nazo awaka oba tojja kukulaakulana kuba ebitengula bingi ate ekibiina kibeera kikukakatako okuwaayo naye mu kuzifuna ziwooma ate ziyamba nnyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...