TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza ssente ne mpona okukozesebwa

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza ssente ne mpona okukozesebwa

Added 19th September 2018

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

 Noordeen Kasoma ng'alaga ebikwata ettaala by'akola mu mabanda

Noordeen Kasoma ng'alaga ebikwata ettaala by'akola mu mabanda

Bya Stella Naigino

Abantu abasinga bwe bafuna emirimu, bakola tebalina kigendererwa, naye Noordeen Kasoma, bwe yamala okusoma n’akuguka mu byamasannyalaze, yanoonya omulimu era n’agufuna mu kkampuni emu.

Yasalawo nti, ajja kukolera emyaka musanvu gyokka

era yakolanga bw’atereka ssente ze.

Yafunanga omusaala ogutakka wansi wa mitwalo 40 nag ku zino kwe yaterekanga.

Nga wayise emyaka ena, Kasoma eby’okukozesebwa yabivaako era n’asalawo yeekozese. Kati akola ebikwata etaala mu mabanda era muno mw’afunye ssente.

Entandikwa

Bwe yava ku mulimu gwe yali akola, yasooka kulowooza ku ky’okukola asobole okwebeezaawo nga takozesebwa.

Ono yatambula ku kibuga ky’e Ntebe gye yali abeera nga yeekaliriza ebintu byemikono abantu bye baali bakola era n’amanya nti ekintu kyonna omuntu asobola okukiyiiyizako n’afunamu ssente.

Olw’okuba yali yakuguka mu byamasannyalaze, yasalawo ayiiyize kw’ekyo ky’asinga okumanya era yasalawo ayongere omutindo ku mataala olwo yeenogere ku nsimbi.

Ebikwata n'okusiikiriza ettaala Kasoma by'akola

 

By’akozesa

  1. Amabanda amakulu okuva mu balimi era nga gano agaanika ne gakala nga tannagayiwamu ddagala limukuuma ng’obuwuka tebumulya.
  2.  Bw’omaliriza ogasalaasala mu bitundu era ebitundu ebyo bye ngatta olwo bwe mmaliriza ne nkwata ettaala ne ngisaamu era ng’eno ewangaala nga tetaataaganyiziddwa.
  3. Bwe mmaliriza, ku mabanda nteekako kasseminti n’obuyinja butonotono okugirungiya era okusikiriza bakasitoma.
  4.  Bwe mmaliriza njaanika mu musana esobole okukala nga sinnagitunda.

Ebinnyambye

  1. Okwogera obulungi ne bakasitoma kinnyambye nnyo kuba mulimu n’alamuza nga taagule naye oyogera naye bulungi era wadde abeera taguze, ayinza okuleeta anaagula.
  2. Okukola ebintu ebirungi ebisikiriza bakasitoma nakyo kinnyambye era situula, buli kaseera mbeera njiiya.
  3. Okukola ekintu kye njagala kinnyambye okubeera omusanyufu era nga nnezzaamu amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...