TOP

Amanda ge ntunda ngakola mu kasasiro

Added 27th September 2018

Buli kintu ekikwetoolodde osobola okukifunamu ssente bw'oba oyiiyizza nga Godius Kangume bw'aziyoola mu manda.

 Kangume ng'alaga amanda g'akola mu kasasiro

Kangume ng'alaga amanda g'akola mu kasasiro

Bya Mary Nambwayo

Abantu bangi bakaaba olw’obutaba na nku, amanda n’ebikozesebwa ebirala mu kufumba n’okukola ebintu ebirala era ku baddukanya bizinensi bakaaba n’abamu okuziddukamu nga zibalemeredde olw’ensimbi ze bassaamu empitirivu ezigenda ku bifumbisibwa.

Wano abavubuka n’abantu abalala we baviiriddeyo okuyiiya okukola amanda agakekkereza ate nga gakuuma n’obutonde bw’ensi.

Godius Kangume ow’e Ntinda agamba nti, akola amanda mu kasasiro n’oluusi akozesa bikuta bya matooke,  ebikongoliro bya kasooli, akawunga ka muwogo n’olusennyente.

Ategeeza nti, bw’abeera akola amanda, ayokya kasasiro n’afuuka evvu, n’agattamu olusennyente, bw’amaliriza mu kifo ky’okukozesa amazzi, akozesa kawunga ka muwogo akabeera kateereddwa mu mazzi olumaliriza ng’ateeka mu kyuma nga byetabula.

Kangume ng'alaga eryanda erimu bwe lyenkana
 
Oluvannyuma ng’amalirizza okukozesa ekyuma okukola sayizi gy’ayagala, agaanika mu kasana okumala ennaku 3 era olukala ng’otandika kufumbisa.

Amanda gano gapimibwa mu kkiro ebeera etundibwa ku 1,500/-, ensawo eya kkiro 50 ya 40,000/-, kkiro 5 za 7,000/-.

Kangume ayongerako nti, amanda gano gakekkereza ng’olunaku osobola okukozesaako obutundu 5 okufumba ebintu byonna by’oyagala, ate teganyooka, ekiyambye okukendeeza okutemebwa kw’emiti.

Amanda ge ntunda ngakola mu kasasiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...