TOP

Ssente ze nkoze mu bulambuzi tezinjuliriza kukozesebwa

Added 30th October 2018

Okutambula kulaba okudda kunyumya wabula John Ssempebwa yasalawo okukoppa n'okussa mu nkola bizinensi kati emuyimirizzaawo ey'okufuula amaka ge ekifo eky'obulambuzi era yettaniddwa.

 Amaka ga Ssempebwa ge yafuula ekifo ky'obulambuzi

Amaka ga Ssempebwa ge yafuula ekifo ky'obulambuzi

Omukisa gw'okufuna ssente guli buli wamu, ggwe kasita ozibula amaaso go oguzuula.

John Ssempebwa ow’e Mutundwe, yataddewo ekkaddiyizo (Museum) erya Ssemagulu Museum eririmu ebyafaayo bya Buganda ne Uganda ng'abisiiga mu bifaananyi n’ateeka mu luggya lwe nga kati ayoola ssente olw'abantu ssekinnoomu, amasomero n'amatendekero abagendayo okubisomako ne basasula.

Annyonnyola nti, nnali ng’enzeeko mu kibuga Brussels mu lukiiko olumu, bwe lwaggwa ne ntambulamu okulambula ku kitundu.

Ssempebwa ng'alaga ebimu ku bibumbe by'abantu ab'ebyafaayo mu Buganda ne Uganda bye yateeka mumaka ge.

 

Bantwala ku kafo akamu akayitibwa Pis Museum ne tusasula doola 15 mu za wano 50,000/- buli omu.

Ekifo kino kyali mmita 3 x 3, nasangawo ekifaananyi ekibumbe eky’akavubuka n’obuntuntu obuyunge, ne nsooka nkanyooma, ng’okuyingira olw’ekitiibwa ekingi kye baali bakateekamu nga n’engatto omala kuziggyamu.

Waaliwo abantu nga bayitirivu abajja okulambula, omusajja yatunnyonnyola nti, oyo omuvubuka yali ayitibwa Pis Manneken. Nti olumu waaliwo abaali balumbye ekibuga kino nga bateze bbomu nnamuzisa nga buli omu asaba ssaala ye esembayo.

Ebimu ku bifaananyi bya Bassekabaka ba Buganda n'abakulembeze abalala ebyasiigibwa ku lugoye nabyo ebiragibwa abagendayo

 

Manneken ono yafuna obuvumu n’agenda awali bbomu n’aggyamu empale ye n’agifukira omusulo we baali bagiteze, mu ngeri y’eky’amagero, bbomu n’etegulukuka bwatyo n’ataasa enkuyanja y’abantu n’ekibuga okusaanawo.

Okuva olwo aweebwa ekitiibwa, ye muzira waayo, kye ky’obulambuzi ekisinga amaanyi mu kibuga kino, buli lunaku afuna abalambuzi abasukka mu 10,000.

Nafuna eky’okuyiga kinene nange kwe kusalawo okusoma ku byafaayo by'eggwanga lyaffe ne mbitegeera bulungi, ne nkola ebifaananyi ebiraga embeera eyo amaka gange ne ngafuula kyabulambuzi ne nteekawo Ssemagulu Museum.

Ssempebwa nga bw'afaanana

Natandika okukola ebifaananyi eby’enjawulo ebiraga embeera eyaliwo mu Buganda ne Uganda okuva gy’evudde, nnina  ebifaananyi bya bassekabaka 45 abaakafuga eggwanga lyaffe Buganda okuva ku Ssekabaka Kintu.

Ebyafaayo bya Uganda byonna nabiteeka mu bifaananyi era mbirina wano ewange.

Mu bbanga lya myezi etaano egya Ssemagulu Museum, naakakyaza amasomero agasukka mu 90 n’abantu abawerako okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo abajja okulambula n’okusoma ku byafaayo by’ensi yaabwe.

Abato basasula 3,000/- ate abakulu 5,000/-, nkizudde nti ebyobulambuzi kasita obyongerako omutindo bikola ssente, nze kati tebakyayinza kunkozesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...

Miriam Wayirimo eyavuganyizza ku kya mmeeya wa Njeru munisipaali ng’alonda ku muzikiti e Namwezi.

Okulonda bwe kwabadde e Lug...

EBYAVUDDE mu kalulu ka Bameeya ne Bakansala ba munisipaali okwetoloola eggwanga biraga nga NUP yasinze kukola bulungi...