
Musenero (ku kkono) ng'apakira amanda agawedde okukola mu kasasiro.
Bya Stella Naigino
Ennaku zino abavubuka abasinga bakaaba emirimu era bangi basaba Gavumenti ebayambe naye era basigala tebayambiddwa.
Abakugu mu bya bizinensi bagamba nti, abavubuka bave mu kuwoza ebya gavumenti okubayamba era beeyambe.
Issa Ssekitto owa Kampala Capital City Traders Association, agamba nti eby’okukola bingi era ng’omuntu kyatalina kubuusa maaso kwe kwokya amanda mu kasasiro.
Ssekitto agamba nti, kino tekyetaagisa kapito ng’omuntu ky’alina okukola, kuteekateeka kifo baliraanwa be kye bayinza okuyiwamu kasasiro ye n’amukolamu amanda.
Engeri amanda gye gakolebwa mu kasasiro
Agnes Musenero, akola amanda mu kasasiro era annyonnyola bwa’akikola:
Omuntu ky’alina okukola kwe kubeera n’eppipa mw’ayokera kasasiro ng’ono asooka kumwanika n’akala olwo n’amuyiwa mu ppipa eteriiko katuli konna n’amwokya.
Kasasiro ono ayokebwa okutuusa ng’ofunye ebisiriiza olwo n’ozikiza omuliro obutafuuka vvu.
Bw’oba omalirizza okumwokya, omuggya mu ppipa n’omuyiwa mu kifo w’awolera. Fumba obuugi bwa muwogo obuyiwemu kuba bwe bukola nga gaamu akwasa amanda olwo ng’otandika okukola amanda.
Wano osobola okukola amanda mu bunene bwonna bw’oyagala era bw’omaliriza ogateeka mu kasana ne gakala nga tonnagatunda.
Amanda gano gafumba bulungi era tegakola mukka ate gaggweerera mpola.
Amanda gano ogatunda okuva ku 1,000/- n’okudda waggulu okusinziira ku bunene n’obungi ate ng’akatale weekali,” Musenero bw’amaliriza.