TOP

Nkalakata byennyanja ne nyinyuka na 30,000/-

Added 1st November 2018

Okukolokota ebyennyanja kintuusizza ku birungi ng'ate sissaamu kapito era sijulirira kugula mudaala.

 Farook Kabali ng'akalakata ebyennyanja

Farook Kabali ng'akalakata ebyennyanja

Bya Hafswa Nankanja

“Mu ddiini gye nsoma waliwo, hadith egamba nti “Omuntu ateekeddwa okukola ennyo mu buvubuka bwe n’akolerera enviiri enjeru.” Ebigambo bino byampa okusoomoozebwa ne nsalawo okukola nga sseebalirira”, bw’atyo  Farook Kabali (25) ow’e Busega bw’atandika emboozi ye ey’okuyiiya ssente.

Nnyingira Kampala

Nava Busujju gye nali nkolera emirimu gy’okweyiiya. Akasente akaavangamu nga tekansobozesa kwebeezaawo ng’omusajja. Waaliwo mikwano gyange egyali gikolera e Kampala nga ndaba obulamu bo bubatambulira bulungi kwe kubeebuuzaako. Abantu bano bankwata ku mukono ne bandeeta mu katale e Busega okukola emirimu gye bakola.

Kabali ng'aweereza kasitoma engege

 

Emitendera gy’oyitamu

Bw’otuuka mu katale, oteekeddwa okufuna emmeeza kw’okolera. Ku mmeeza obeerawo ku bwereere kyokka nga mulina okukkaanya ne nannyiniyo  n’oba nga ggwe ogimulongooseza n’okumukolerako ssinga abeera taliiwo. Kyokka oteekeddwa okusasuila 500/- buli lunaku ez’akatale.

Ntandika okukola

Mu katale amaanyi ge gakweyimirira. Nze saatandika na Kapito yenna okuggyako okusitula ekigaali kyange eky’emigugu n’ejjambiya ekalakata engege. Buli ngege ngirongooseza 500/-  n’okudda waggulu nga kisinziira ku bunene bwayo mpozzi ne ssente z’empuuta ennene zisingawo ko.

Kabali ng'atikkula ayisi ku mmotoka

Ng’oggyeeko okulongoosa engege, nzitikkula okuva ku mmotoka ezizireeta okuva ku myalo ne nzitwala ku mudaala  ku mmeeza ya nannyini zo.

Okutikkula kwo batusasulamu ngege. Nga kisinziira ku buzito bwa buli kisawo. Emirundi egisinga nfuna engege evaamu ssente ezitakka wansi wa 4,000/-. Kiri eri ggwe okusalawo okutunda engege ezo oba okuzitwala awaka n’ozirya.

Ntikkula ne ayisi okuva ku mmotoka ate oluvannyuma ne mmutikka ku mmotoka egenda ku mwalo. Ayisi bansasula 3,000/- buli kisawo.

Mu katale nkeerawo ku ssaawa 12, bwe ziwera essaawa musanvu nga nze nyinyuka ogw’okulongoosa engege. Ate okuva ku ssaawa ezo okutuuka olweggulo mbeera mu kutikkula ngege okuva ku myalo. Bwe watabaawo mirimu olwo nga nyinyuka.

Kabali ng'asiba ayisi okumutwalira kasitoma

Nzigya na ngalo ngyereere kyokka nyinyuka na ssente ezitakka wansi wa 30,000/-. Ssente zino tezibaako musoso gwonna. Sseegomba kutandika mudaala gwange kubanga wano awatali kapito wankolera okusinga n’omuntu owa ofiisi alindirira omusaala oluusi ogulwawo n’okujja.

Bye nfunyeemu

  1. Nnina amaka ge ndabirira obulungi, omukyala n’abaana babiri.
  2. Nagulayo ente n’embuzi ne mbiweereza maama mu kyalo okulunda.
  3. Ndi mu nteekateeka ya kwegulira kifo kya kuzimbamu nyumba nve mu bupangisa.

Ebinnyambye

  1. Obwesigwa kikulu nnyo. Kubanga nze nannyini kifo olumu andekawo n’agenda ku bintu bye ebimu kyokka emirimu gye ne ngitambuza bulungi. Ne bakasitoma mbakolera ekyo kye babeera basasulidde.
Kabali ng'asindika ekigaali kw'asombera ebintu bya bakasitoma

Amaanyi nakyo kikulu nnyo. Oteekeddwa okubeera nga teweebalirira era ng’amaanyi ogalina.

  1. Abavubuka muve mu kunyooma emirimu. Omulimu bwe guba guvaamu ssente totunuulira boogezi kuba bw’odda mu kusabiriza ate abo b’otya be bakusekerera. Nze bw’onsanga olweggulo toyinza kumanya nti nsiiba mu ngege.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...