TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Ssekukkulu ngiranga mu bakasitoma nga bukyali ne nfuna amagoba agawera

Ssekukkulu ngiranga mu bakasitoma nga bukyali ne nfuna amagoba agawera

Added 27th November 2018

Ng'onaafuna mu biseera bya Ssekukkulu olina kuzuukusa bakasitoma nga bukyali n'ogibateekamu ku mpaka.

 Ssengayuva ng'aguza bakasitoma ebya Ssekukkulu

Ssengayuva ng'aguza bakasitoma ebya Ssekukkulu

Bya Emmanuel Ssekaggo
Omuntu bw’aba musuubuzi alina okubeera omutetenkanya ennyo okusobola
okubufunamu. Ali Sengayuva, muvubuka ate nga naye musuubuzi, akolera
Kamwokya era ng’atunda bizannyisibwa by’abaana n’okutunda ebintu
by’omu nnyumba ebikozeeko.
Sengayuva agamba nti, ebiseera by’ennaku enkulu abirindirira era alina obukodyo obumuleetera bakasitoma n’akola ssente.

Annyonnyola bw’atega ssente mu kiseera kino:

Natandika okutimba ebya Ssekukkulu mu November olwo abantu ne ntandika
okubateeka mu mudigido gw’amazaalibwa. Nkikola bukyali nga njagala okukwasa bakasitoma kuba buli alaba ebya Ssekukkulu nga tannaba kubiraba walala aba afaayo n’okumanya bye ntunda era ekivaamu ng’agula.
Okutimba ebya Ssekukkulu mu budde kyafuuka kitindu ku bulamu bwange kuba ndowooza mu Kamwokya kumpi osanga ne mu Kampala yonna nze nsooka okumanyisa abantu nti Ssekukkulu etuuse.

Ssengayuva ng'atimba ebitimbisibwa ebya Ssekukkulu

Olw’okuba nsinga kutunda bizannyisibwa by’abaana, buli muzadde ayitawo nga ntimbye aba asikirizibwa okugulira omwana we eky’okuzannyisa wabula nga kino kivudde ku kutimba kwe mbeera nakola mu budde.
Era mu ngeri y’emu bwe ntimba n’abatalina ssente mu kadde ako bajja ne balaba bye ntunda olwo ne bampa olunaku lwe banaakomawo okugula nga bafunye ssente. Olwo okutimba kuba kunnyambye okufuna kasitoma
ow’omu maaso.
Ate era okutimba kunnyamba n’okukola erinnya kubanga kati mu Kamwokya wonna bammanyi ate buli musuubuzi yenna bw’aba amanyiddwa ebintu bye biba bijja kutambula bulungi kubanga abaguzi baba bamwettanira.

Obukodyo bwe nkozesa
1.  Bwe mbeera ntimba nsinga kufa ku mataala era ekiro edduuka lyange lyonna liba lyakaayakana ng’omuntu ne bw’aba ali wala
aba asobola okusikirizibwa okujja okulaba biki bye ntunda era ekivaamu kuba kugula.
2. Obuti bwa Ssekukkulu nabwo mbuleeta. Mu November mbeera mmaze okubugula era abantu bazooka kubulabira wange ne bagula n’abasuubula ne batandika. Buno nabwo bukola kinene okunsikira bakasitoma.

Ssengayuva atimba n'ateekawo n'ebisikiriza ebirala omuli leediyo ne ttivvi ssaako obumuli nga byonna bisikiriza abaguzi


3. Nnyambala ebikoofiira bya Ssekukkulu era na buli gwe nkola naye mbeera nnina okubimugulira. Kino kikola nnyo mu kusikiriza bakasitoma okujja.

4. Nkuba ennyimba z’amazaalibwa ku mizindaalo gyange kati buli ayita ku kkubo ne bwaba tafudde ku bitimbiddwa waakiri awulira ennyimba zino. Bw’aziwulira okumala
akabanga era lukya lumu n’akyama n’angulako.
Abasubuuzi tuleme kulowooza nga bali abatasuubuula nti bo Ssekukkulu bagyetegekera wabula wiiki emu, ffe tulina kugitegeera nga Bazungu.
November bw’atuuka tutandikirewo okusuubula ebya Ssekukkulu nga kw’ossa
n’okutimba olwo bakasitoma bajja kutwettanira sizoni ogifunemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...