TOP

Ebbumba n'emiti mwe njiiyiza ne nfuna ssente

Added 15th February 2019

Mu kulambula abaliko bye bakola mwe naggya ekirowoozo ky'okubumba n'okuwunda emiti kati mwe nzigya ssente

 Oteyo ng'alaga ebimu ku bintu by'abumba n'okubajja.

Oteyo ng'alaga ebimu ku bintu by'abumba n'okubajja.

Bya Stella Naigino

Omuntu bw'akugamba nti toli mwavu mutwe gwo gwe mwavu abamu baseka abalala ne bajerega naye nga Richard Oteyo akikkaatiriza nti kituufu.

Agamba nti, ky'ekiseera abantu bayige okukola ssente nga bakozesa obwongo bwabwe, n'amagezi amazaale beggye mu bwavu.

Oteyo agamba nti, buli omu atondebwa ng'alina ky'asobola okukola ne bw'abeera tasomye naye bw'ayongerako amagezi ag'omu ssomero olwo ayitirira.

Annyonnyola nti: Nnali sirina kye nkola naye nazuukuka lumu ne nsalawo neeyongereko era nasalawo okuwunda ebintu eby'enjawulo nga nkozesa ebbumba.

 tega ngalaga ekimu ku bibumbe ebitimbibwa mu nju Oteyo ng'alaga ekimu ku bibumbe ebitimbibwa mu nju.

 

Entandikwa

Natambula ne ndaba ebintu bingi era nga mu bino mwe naggya ekirowoozo ky'okukola ebintu bye nfunamu ssente.

Nalowooza ku ngeri gye nsobola okubikola nga bwe natunula amaaso gaatuukira ku bbumba ne mmanya nti nfunye kapito era nanoonya kifo waakukolera ne ntandika.

Nkola entebe mu bifaananyi by'ebinyonyi n'ebisolo, obubakuli, emizannyo nga chess, omweso n'ebirala, ebitimbibwa mu nnyumba, ebivuga, n'ebirala bingi.

Bye nfunye

  1. Nfunye emikwano naddala mu bavubuka abalabye ebintu byange. Bangi banneebuuzaako nga baagala kubayigiriza. Bano bafuuka mikwano gyange.
  2. Njize okukolagana n'abantu era okufuna mu ky'okola olina okwekwata abantu osobole okwongerwako amagezi.
 birala ebikolebwa teyo Ebirala ebikolebwa Oteyo

 

Ebimuyambye

  1. Kubeera muyiiya

Omuntu yenna okufuna n'akulaakulana, alina kubeera muyiiya kuba bakasitoma beetaaga kuyiiyiza buli kiseera kuba baagala bitambula na mulembe ate nga bya mutindo.

  1. Okukola ennyo

Okufuna ekiwera olina kukola nnyo ng'abaguzi buli lwe bajja basangawo ekipya ekiwedde kye batwalirawo ne batadda mukulinda ate kwekyusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...