TOP

Obutooki bwe nakolanga okuzannyisa kati mbufunamu ssente

Added 5th March 2019

Nasooka kukola butooki bwa kuzannyisa kyokka ekibululu ekyajja olw'amasannyalaze okuvaako kye kyanzibula amaaso kati nkola ssente.

 Kawooya ng'alaga akatooki k'amalirizza okukola nga kaaka.

Kawooya ng'alaga akatooki k'amalirizza okukola nga kaaka.

Bya Paul Kakande

Ronald Kawooya 10, asoma P.4  ku Ivory Primary School e Kateera mu Town Council y'e Bukomero nga mutabani wa Charles Kasule e Kateera y'omu ku balwanyisizza enzikiza mu kitundu kye oluvannyuma lw'okuyiiya obutooki obukozesebwa ng'amasannyalaze gavuddeko ng'era afunyeemu.

Anyumya bwe byatandika:

Okutandika okukola obutaala buno nali mbuzannyisa ne bannange, kyokka olumu amasannyalaze gaavaako okumala ebbanga abantu nga balina kukozesa mafuta.

Amafuta gaggwa ku ssundiro eryaliwo ate ng'abaali bagatunda mu bidomola bagaseera.

 awooya ngagatta waya okwakisa tooki Kawooya ng'agatta waya okwakisa tooki.

 

Nali nkola butooki bwange nga mbuzannyisa ne bannange era ekibululu bwe kyatuuka ne ntandika n'okubukozesa mu kisenge kyaffe kubanga taata yali tayagala tukozese misubbaawa ng'atya okwokya ennyumba.

Taata bwe yalaba nga bwaka bulungi n'andagira nkoleyo n'ak'omu ddiiro era ne nkakola, okuva olwo buli eyajjanga awaka nga kaaka, nga yeebuuza eyakola akataala ako, bwe baamugambanga nti nze ng'ang'amba okumukolerayo.

Maama ne taata bwe baalaba nga bye nkola waliwo ababyagala ne basalawo okumpagira nga bampa bye nali nkozesa ng'amanda ne waya, olwo ne nnonda enkoba n'ebibookisi bye nkozesa okusiba amanda ne ntandika omulimu.

Bye nkozesa

Mu kukola obutaala buno sseetaga bintu bingi, nkozesa ebipapula by'ebibookisi, enkoba, obuti, amanda n'obutaala bwa balubu obuva mu butooki obukaddiye.

Enkoba, ebibookisi n'obuti, mbikozesa mu kusiba amanda ge mbeera ng'enda okukozesa okwakisa balubu.

Nkozesa amanda okuva ku limu okutuuka ku mukaaga. Amanda gye gakoma okubeera amangi n'ebbanga lye kamala nga kaaka okubeera eggwanvu naye ne ssente ze nsaba gye zikoma okulinnya.

 awooya ngalaga amanda gakozesa okwakisa tooki zakola Kawooya ng'alaga amanda g'akozesa okwakisa tooki z'akola

 

Obutaala bwange buwangaala wakati wa wiiki 2 n'omwezi kyokka bwe kaba kaweddemu amaanyi omuntu ampita ne nziramu ne nsumulula amanda ne tuggyamu agayonoonose ate ne nteekamu amalamu oba okugaanikako ate ne tuddamu ne tugakozesa.

 Be nguza  obutaala bwange

Obutaala bwange mbuguza baliraanwa baffe ate naffe awaka tubukozesa bwe wabeerawo obwetaavu.

Kyokka mu kiseera kino omuntu bw'aba ayagala okumukolera akataala ye yeegulira amanda olwo nze ne noonya ebisigadde ne mukolera akataala okuggyako ssinga aba akkiriza ebbeeyi gye naakamuguza nga nze nneenoonyeza amanda.

Obutaala bwe nkola busingira wala obutooki obutundibwa mu maduuka kubanga bwo bukola olunaku lumu ate obubwe busobola n'okusukka omwezi.

 awooya ngalaga obuwanvu bwa waya zasiba ku tooki zakola Kawooya ng'alaga obuwanvu bwa waya z'asiba ku tooki z'akola

 

Ekirala mbusiba wamu ng'omuntu tasobola kwerabira waakatadde kubanga akasibira mu kifo kimu kyokka ne bw'oba oyagala akokutambuza asobola okukakola nga katambuzimbwa.

 Ebbeeyi y'akataala

Akataala kange bwe mba nga buli kimu nze nkyefunidde mba nkatunda wakati wa 2,000/- ne 4,000/-, kyokka bwe kiba nga kaasitoma y'aguze amanda, nze ne nfuna ebikozesebwa ebisigadde kaba wakati wa 1,000/- ne 3000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...