TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Ebbeeyi y'ebyennyanja okukka esanyusizza abasuubuzi mu katale e Mukono

Ebbeeyi y'ebyennyanja okukka esanyusizza abasuubuzi mu katale e Mukono

Added 24th April 2019

Abasuubuzi b'ebyennyanja basanyufu olwa bbeeyi yaabyo okukka bakasitoma ne beeyongera.

Abasuubuzi nga balongoosa empuuta ze baguze

Abasuubuzi nga balongoosa empuuta ze baguze

Bya Joanita Nakatte

Abasuubuzi b'ebyennyanja mu katale ka Kame (mu kikko) e Mukono basanyufu olwa bbeeyi y'empuuta okukka.

Nga bakulembeddwa kkansala waabwe, Alex Kivumbi, baategeezezza Bukedde ng'embeera bw'ezze etereeramu okusinga bw'ebadde emabega mu bbanga lya myezi nga munaana era nga kati ebyennyanja omuli n'empuuta mu katale kano  bigulwa ku bitundu 70 ku 100.

 mpuuta ezitundibwa bwe zenkana Empuuta ezitundibwa bwe zenkana

 

Kivumbi yannyonnyodde ng'ensonga y'ebbeeyi y'ebyennyanja bwe yasinga okukosa abavubi ababiguza aba fakitole olw'obungi bwe byaliko wabula ng'ate si bwe gwali eri bo olw'ensonga nti n'abaali batabirya olw'ebbeeyi yaabyo, baatandika okubyettanira oluvannyuma lw'okubiteeka ku bbeeyi esikiriza.

"Gye buvuddeko tubadde tukaluubirirwa era nga tufiirwa bakasitoma olw'ebbeeyi okubaddusa ku midaala gyaffe. Okuva empuuta lwe yakka ebbeeyi kizibu okusigaza ebyennyanja naddala empuuta ku midaala kubanga babitwala mu bungi era mu wiiki weesanga osuubudde emirundi egitakka wansi w'etaano," Kivumbi bwe yagambye.

musuubuzi ngasalaasala ebifi byempuuta bakasitoma bye bagula mu kataleOmusuubuzi ng'asalaasala ebifi by'empuuta bakasitoma bye bagula mu katale

 

Yagambye nti, newankubadde guli gutyo bafunye okusoomoozebwa nga bo abasuubuzi omuli emmotoka z'ebyennyanja byabwe okubafiirako mu kkubo nga babireeta mu butale olw'amakubo amabi gye babitambuliza ekivaako okwonooneka, nga n'emiwendo gy'emisolo egibasoloozebwamu miyitirivu olwo ne beesanga ng'amagoba agandibayambye okwebeezaawo ate bagazzizza eri gavumenti.

"Tusaba gavumenti etuukirize bye yatusuubiza naddala ku nsonga z'okutukolera amakubo mu bifo eby'enjawulo gye tuggya ebyennyanja byaffe.

Twagala erongoose ne mu mbeera y'abavubi gye bakoleramu kubanga bwe banyigirizibwa naffe mu ngeri emu oba endala tukosebwa.

 ivumbi ngalaga empuuta nengege bye batunda Kivumbi ng'alaga empuuta n'engege bye batunda

 

Twagala ekendeeze ku miwendo gy'amaato n'obutimba bwe tukozesa ebiri ku buseere era twetaaga okuyambibwa okulaba nga tutereeza omulimu gwaffe naffe tugufunemu ng'abalala tusobole okweggya mu bwavu," Kivumbi bwe yagambye.

Yawanjagidde munisipaali y'e Mukono okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa abagabirizi b'obuyambi abaabazimbira ekizimbe mwe baddukanyiza emirimu gyabwe, obw'okukirabirira n'okukiddaabiriza nga babateeramu byonna ebyetaagisa omuli firiigi n'ebintu ebirala ebinaabasobozesa okulongoosa mu mbeera gye bakoleramu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...

Abazannyi ba Gomba nga basanyikira emu ku ggoolo ezaateebeddwa Charles Bbaale (asitamye ku kkono).

Gomba ne Buddu zifungizza k...

BANNABUDDU n'abava e Gomba essanyu katono libaabye eggulo, ttiimu zaabwe bwe zeesozze semi y'empaka z'omupiira...

Omu ku baana aba P7 ng’afuna ebikozesebwa.

Aba P7 bafunye ebinaabayisa...

ESSOMERO ly'abaana bamulekwa ne bakateeyamba baweereddwa emmere enaabayisa mu kiseera ky'okukola ebibuuzo bya PLE....