TOP

Ayagala okweggya mu bwavu weekwate Yiiya Ssente mu Bukedde

Added 27th April 2019

Ayagala okwekulaakulanya weekwate emiko gya Yiiya Ssente mu Bukedde buli Lwakusatu weegobeko obwavu.

Esther Baroma ng'alaga amawulire ga Bukedde omuli emiko gye Yiiya Ssente egijjudde amagezi ag'okukola ssente.

Esther Baroma ng'alaga amawulire ga Bukedde omuli emiko gye Yiiya Ssente egijjudde amagezi ag'okukola ssente.

Bya Madinah Sebyala

Akulira eby'obusuubuzi ku disitulikiti y'e Mukono, Keneth Ntege akubiriza abantu abaagala okulinnyisa eddaala mu byenfuna beekwate BUKEDDE kubanga mulimu emboozi eziyigiriza obusuubuzi.

Agambye nti, ye BUKEDDE naddala ow'oku Lwokusatu afulumya emiko gya YIIYA SSENTE mulimu bingi omuntu ayagala okutandika bizinensi naddala ez'obwegassi by'ayigirako Kuno bagattako ‘Ensi Kuyiiya' eya Micheal Mukasa Ssebowa ne Yiga Enkwata ya Ssente nga ssinga weekwata BUKEDDE toyinza kulekebwa mabega mu byensimbi. 

 Akulira ebyobusuubuzi ku disitulikiti, Keneth Ntege ne Baroma ng'aliko byatangaaza 

Yabadde mu musomo oguyigiriza abakyala obwegassi ku kitebe kya Disitulikiti y'e Mukono gye yayitiddwa  ekibiina kya Mukono Women Forum SACCO. 

Mu kusomesa yakubirizza abakyala okukendeeza ku budde bwe bamala nga tebayingiza era n'abakubiriza n'okukuuma ebitabo mu bizinensi ze bakola.

Easter Baroma, akulira  olukiiko olufuga abakyala mu disitulikiti y'e Mukono era nga y'omu ku bataddewo kaweefube okulaba nti abakyala bagoba obwavu mu maka nga bayita mu kibiina kyabwe kino yakubirizza abakyala okutandikawo bizinensi beewole nga bwe batereka ate bafube okuyamba ku baami baabwe nga kye kinaamalawo n'obutabanguko mu maka.   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....