TOP

Oketch obwavu abugobye na kukola fulasika mu mbaawo

Added 24th June 2019

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

 Oketch ng'alagirira abayizi engeri y'okukola fulasika mu mbaawo

Oketch ng'alagirira abayizi engeri y'okukola fulasika mu mbaawo

Bya Stella Naigino

Toli mwavu, mutwe gwo gwe mwavu. Kino, Quinto Oketch 60,  yakikwata era kimuyambye okwegobako obwavu.

Oketch musomesa wa byamikono ku Lugogo Vocational Institute, era agamba nti omulimu gwe gumufunyisizza ebirungi bingi kuba buli kiseera abeera ayiiya ekipya ky'anafunamu ssente.

Yatandika na kukola bitanda na ntebe kati akola fulasika mu mbawo era nga zino azinogamu ensimbi.

Akikola atya?

Oketch agamba nti, nga tannatandika, asooka kugula bintu bye yeetaaga nga; emisumaali, embaawo, omusumeeni, gaamu n'ebirala.

Asalasala embaawo okusinziira ku bipimo by'aba akoze era bw'amala n'atandika okubigatta okukola fulasika.

 ulasika eziwedde okukola Fulasika eziwedde okukola.

 

Asooka kukola kitundu eky'ebweru oluvannyuma n'akola eky'omunda awatuula ssefuliya essibwamu ebyokulya nga wakati waabyo assaawo ppamba ayamba okukwata ebbugumu.

Akolerako ekisaanikira nga kino akiteekamua kabaati.

Agisiiga langi ng'amalirizza okugirabisa obulungi nga tannagitunda era bw'amala okugisiiga, agiteeka ku mudaala w'atundira.

Enkola yaayo

Oketch agamba nti, nga fulasika endala zonna bwe zikola ne fulasika y'embaawo bw'ekola, ekuuma emmere yonna ng'eyokya oba ng'ewoze.

Osooka kugiyonja ng'ogenda okugikozesa  olwo n'oteeka emmere mu ssefuluya n'ogituuzaamu era n'osaanikirako.

By'afunyeemu

  1. Essanyu buli lw'amaliriza omulimu gw'akoze nga mulungi.
  2. Ssente n'emikwano.
  3. Ayongedde okukuguka mu by'akola nga kati abantu abasinga bamwebuuzaako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....