TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Obwavu obwannuma bwansindika okuyiga okubajja mwe nfunye essanyu

Obwavu obwannuma bwansindika okuyiga okubajja mwe nfunye essanyu

Added 1st July 2019

Hillary Mubiru obwavu abugobye ayita mu kubajja butanda bw'abaana.

 Mubiru ng'amaliriza akatanda k'omwana

Mubiru ng'amaliriza akatanda k'omwana

Bya Stella Naigino

Hillary Mubiru, omutuuze w'e Seeta teyalina mulimu era nga buli lw'alaba abakola ebintu mu mbaawo yeegomba naye abeereko ne ky'akola yeggye mu bwavu.

Lumu yatuukirira omubazzi w'ebitanda n'amusaba okumuyigiriza era n'akkiriza okumusomesa okumala emyezi mukaaga. Gino bwe gyaggwaako, Mubiru yali akuguse mu kubajja ebitanda.

Wadde nga yali ayize, Mubiru yasalawo okusigala ng'akola okusobola okufuna kapito amusobozesa okuteekawo ebibye era yakolera omwaka mulamba nga bw'atereka ssente. Bwe zaawera, yeetongola era kati yeekozesa.

 kamu ku butanda bwabaana ubiru bwakola Akamu ku butanda bw'abaana Mubiru bw'akola

 

Entandikwa

Bwe nalaba nga ssente ze nali njagala okuweza nzifunye, nasiibula mukama wange era ne mugamba nti ky'ekisera nange nneekozese.

Yampabula era n'ansiibula bulungi, nga kino kyampa amaanyi agakola nga nakati mmwenyumirizaamu.

Nanoonya ekifo e Seeta kye nasasulira 100,000/-, buli mwezi ne ntandika okukola.

Natandika n'ebintu bitonotono era nagenda nnyongerako mpolampola nga bwe njiga ebintu bakasitoma bye basinga okwagala.

Nakizuula nti, bakasitoma baagala ebintu by'abaana ate nga birabika bulungi bwentyo ne nsalawo okukola obutanda bw'abaana.

Emitendera gy'okubajja obutanda

  1. Nkuba ekifaananyi ky'akatanda ke ng'enda okukola ne nkuba ne pulaani y'okukolamu ekyo kye nkubye.
  2.  Ntegeka ebintu bye mbeera ng'enda okukozesa nga; embaawo, emisumaali, obusala embawo, langi n'ebirala olwo nga ntandika.
 ubiru ngalaga akamu ku katanda aka deeka  Mubiru ng'alaga akamu ku katanda aka deeka

 

Ebinkuumidde mu bubazzi

  1.  Obubazzi abumazeemu emyaka ebiri ng'ekimu ku binnyambye kwe kumanya bakasitoma kye baagala.

Nakolanga ebitanda ebinene, n'eby'abaana naye nakizula nti eby'abaana bitambula ne nsalawo okukola ebyo.

  1.  Ngezaako okuyiiya dizayini ennungi okusikiriza bakasitoma, era abasinga bajja ne bagula era ne baleeta n'abalala.
  2.  Okwogera obulungi ne bakasitoma nakyo kinnyambye era kino kimpangaazizza nabo. Mbabuulira amazima era bwemba siisobole kukola muntu ky'ang'amba, mmubuulira ekituufu.
 butanda obulala obwabaana ubiru bwamalirizza okubajja Obutanda obulala obw'abaana Mubiru bw'amalirizza okubajja

 

Bye nfunyeemu

  • Obulamu kati bwakyuka era nsobola okwebeezaawo ne bato bange ne mbaweerera.
  • Nga bwe nayambibwa ne njigirizibwa nange nnina be njigiriza era nga nabo nsuubira bwe banaayiga bajja kusobola okweyamba.

Okusoomoozebwa

Bbeeyi y'ebintu erinnya buli kaseera kikosa engeri gye ntundamu ebintu byange.

Ekirala bakasitoma olumu bakozesa ebintu ne balwawo okusasula nga kino kisiba ssente okumala ebbanga n'ofiirizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...