TOP

Zimba ennyumba z'abapangisa weenogere ssente

Added 9th August 2019

Ayagala okwetegekera obukadde bwe kisaanye ssente oziteeke mu mayumba g'abapangisa nga muzeeyi Owor ow'e Mutungo bw'akoze era teyejjusa

 Owori ng'alaga ennyumba z'abapangisa ze yazimba

Owori ng'alaga ennyumba z'abapangisa ze yazimba

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga abantu babeera ne ssente naye nga beewuunya kye basobola okuzikolamu nga kinaazaala amagoba.

Mark Owor, nga mutuuze w'e Mutungo agamba nti, omuntu talina kutunula walala wabula ateeke ssente mu kuzimba amayumba g'abapangisa tajja kwejjusa.

Agamba nti, yakigezaako era kati afuna ssente buli mwezi ng'omupangisa ne bw'agenda teyeeraliikirira kubanga abeera ajja kufuna omulala.

Annyonnyola nti, ekintu ekikulu omuntu ky'alina okussaako amaaso kwe kuzimba ennyumba ennungi eneesikiriza abantu abalina ku ssente nga bano tebakaluubizibwa kusasula.

 wor ngali mu mpya abaana babapangisa we bazannyira nabakulu okuwummulirako Owor ng'ali mu mpya abaana b'abapangisa we bazannyira n'abakulu okuwummulirako

 

"Ebintu ebirala by'olina okussaako essira y'engeri gy'ojja okufunamu ssente zino oba abapangisa bajja kuziteeka ku akawunti oba bazikuleetere awaka wo oba ggwe ozinone.

Engeri y'okusasula nkulu era ggwe azimba ennyumba z'abapangisa tolina kukibuusa maaso."

Ebimuyambye okwekuumira mu bizinensi

  1. Abapangisa abayisa bulungi ng'abaleka ne bakola ebyo ebibasanyusa era tabamalaako mirembe wadde abeera kumpi nabo.
  2. Amanyi obuvunaanyizibwa bwa landiroodi era bwe wabeerawo obuzibu ku nnyumba, abutereeza mangu olwo abapangisa ne babeera basanyufu. Agamba nti, kino kiwangaazizza abapangisa be era abasinga bavaawo bamalirizza okuzimba ezaabwe.

By'afunyemu

Ssente ezimubeezaawo mu bukadde bwe era akikakasa nti n'abazzukulu baliganyulwa mu nnyumba zino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...

Isma ayogedde ku bulwadde b...

Isma ayogedde ku bulwadde obuluma Sheikh Muzaata,  Loodi meeya Lukwago n'ebyobufuzi ebyenjawulo mu ggwanga.

Bobi Wine nga yaakatuuka e Buliisa.

Bobi alaze bw'agenda okugab...

ROBERT Kyagulanyi Ssentamu ' ‘Bobi Wine' asuubizza ab'e Bunyoro nti ng'afuuse Pulezidenti wa Uganda, abantu abagobeddwa...

Bannakibiina kya FDC abakulemeddwaamu Amuriat (ddyo), Birigwa, Nandala n’abalala nga bakwasa Atuha ebirabo.

Amuriat asuubizza ab'e Buny...

PATRICK Oboi Amuriat, akwatidde FDC bendera mu kuvuganya ku bwa Pulezidenti asisinkanye abakungu mu bwakabaka bwa...