TOP

Okukanika kumponyezza okukemebwa abasajja

Added 16th September 2019

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente

 Anyagata ng'akanika pikipiki w'akolera

Anyagata ng'akanika pikipiki w'akolera

Bya Joanita Nakatte

Omulimu gw'obwamakanika gumu ku mirimu eginyoomebwa naddala  abavubuka so nga bw'oba nga ogukozesezza obuvumu osobola okubaako eddaala lye gukutuusaako.

Norah Anyagata 20, omutuuze w'e Nabuti mu zooni ya Kavule mu disitulikiti y'e Mukono  ye muwala omuto eyeewuunyisa ab'ekyalo olw'obuvumu bw'alina olw'okukola obwamakanika bwe yatandika nga muto ddala.

Agamba nti: "Natandika okukanika mu 2017 oluvannyuma lw'emisomo gyange okulema.

Nagendanga ne tata ku mulimu gwe nga naye yali makanika era ne mmuyigirako.

Mu 2010, bwe nnali naatera okumaliriza siniya eyookutaano, natandika okukola ne tata mu luwummula ne mu biseera byange eby'eddembe kubanga nali ntandise okufuuka omukugu olw'ebbanga lye nnamala nga muyigirako.

 nyagata ngalongooza ebyuma byakozesa mu kukanika Anyagata ng'alongooza ebyuma by'akozesa mu kukanika

 

Nayagalanga nnyo okumanya era kw'ebyo bye yanjigirizanga, nayongerako  okwetegerezanga abamu ku be yasomesanga ne nnyongera okukuguka mu kukanika pikipiki okuva ku sipeeya waazo n'ebirala.

Mu 2011 nga kitange amaze okuva mu nsi, nze ne baganda bange twatandika okuddukanya galagi ya taata wabula olw'engeri gye baali batalina bukugu mu byakukanika, ekiseera kyatuuka ne bagindekera ne ntandika okugiddukanya.

Emirimu bwe gyampitirirako, nawalirizibwa okuva ku yunivasite ya Muteesa 1 Royal gye nali ntandise okusoma ebya bizinensi mu mwaka gwange ogusooka  oluvannyuma lw'okulemererwa okukwataganya okusoma n'okukola.

Bakasitoma mbafuna olw'enkola yange ennungi kubanga ndi mwesimbu.

Ebinkuumidde mu mulimu

  1. Nkuumye omutindo
  2. Abamu banneeyunira kubanga ndi muwala ate mwesigwa.
  3. Nkozesa obwangu mu buli kye nkola kubanga ebiseera ebisinga pikipiki ze nkanika bannannyini zo babeera bazeetaaga mangu.
 nyagata ngali mu dduuka mwatundira ebyuma ne woyiro wa pikipiki Anyagata ng'ali mu dduuka mw'atundira ebyuma ne woyiro wa pikipiki

 

Okusoomoozebwa

Abantu abamu bannyooma olw'okuba omukazi.

Abamu okusasula kubeera kwa lutalo ekinfiiriza.

Nandyetaaze okukugukira ddala mu kukanika kubanga mulimu oluusi ebireetebwa oba oluusi omuntu n'abaako ky'ayagala nga sikitegeera era nsuubira nti, mu bbanga eritali lya wala nsuubira okuddayo okusomerera omulimu gwange guno.

By'afunyeemu

  1. Nsobola okwerabirira n'okusasulira ekifo we nkolera ssaako we nsula.
  2. Nfunye eby'okukola ne sikemebwa basajja.

Nkubiriza bawala bannange obutanyooma mirimu n'okweggyamu eng'ombo egamba nti, ‘ogwo mulimu gwa basajja', buli mulimu osobola okugukola ssinga oba ogutaddeko ebirowoozo ate ng'ogwagadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....

Omulangira Nakibinge (ku ddyo) Supreme Mufti Sirimaani Kasule Ndirangwa n’abalala nga baakamaliriza okusaala

By'olina okukola okusobola ...

EJJANA gwe musaala oba empeera buli mukkiriza gy'asuubira okufuna ku lunaku lw'enkomerero. Kyokka olw'okuba...

Spice Diana atangaazizza ku...

Spice Diana atangaazizza ku nsonga za AS Roma

Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Robert Kyagulanyi Ssentamu akulira NUP wamu n'abakungu b'e Mmengo ne bannabyafuzi abaawerekeddeko Kyagulanyi nga beekubisa ekifaanyi ekyawamu

Ebyabaddewo nga Bobi Wine a...

KAABADDE katuubagiro nga munnabyabufuzi era omukulembeze w'ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi...

Omugagga Katumwa

Poliisi ekyalemedde omugagg...

OMUGAGGA David Katumwa eyeesimbyewo ku bubaka bwa Palamenti obwa munisipaali y’e Nansana we bwawungeeredde eggulo...