TOP

Obuwempe bw'oku mmeeza mwe nzudde ekyama ky'okukola ssente

Added 16th September 2019

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

 Obumu ku buwempe obulukiddwa mu mbira

Obumu ku buwempe obulukiddwa mu mbira

Bya Stella Naigino

Florence Nakaweesi bwe yakimanya nti obwavu mpologoma, eby'okulela engalo n'abivaako.

Yatandika okukola obuwempe bw'oku mmeeza mu mbira era nga bino yabiyigira mu bakyala banne e mulago ng'eno balinayo ekibiina mwe beegattira ne beeyigiriza okukola ebintu eby'enjawulo.

Okuyiga okukola ebintu bino kyamutwalira ebbanga lya myezi esatu era okuva lwe yayiga, taddanga mabega wabula yatandikirawo okukola nga kati ssente anoga.

Bw'akola omulimu gwe

Nakaweesi agamba nti, atambula n'omulembe ng'anoonyereza dizayini eziriko bakasitoma ze baagala era ezo z'akola.

 akaweesi ngalaga ebimu ku bye bakola Nakaweesi ng'alaga ebimu ku bye bakola

 

kuno agattako okwogera mu lulimi olusikiriza bakasitoma ekibafuula mikwano gye ne bamuleetera n'abaguzi abalala.

Ky'ayize mu kukola

Nakaweesi agamba nti, ayize nti omuntu okubeera obulungi alina kukola era ng'okwekubagiza emirimu bwe gyabula tekirina kye kiyamba.

Abantu baagala alina nga ne bw'ofuna obuzibu omuntu akuyamba mangu ng'amaze kutegeera nti, naawe olina w'ojja okumuyambira.

Agamba nti, buli lw'ajjukira ebyo yeeyongera okukola nga kino kimutwalira ddala mu maaso.

akubiriza bakyala banne okwenyigira mu kukola omulimu gwonna ogw'emikono ng'awo bajja kwegobako obwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...

Trump asimattuse omukazi ey...

AB'EGYE erikuuma Pulezidenti wa Amerika singa tebaatebuse mukazi eyabadde ateze Pulezidenti Donald Trump obutwa...

Kazimba ng’agenze okulambula e Makerere.

Ofiisa wa poliisi akwatiddw...

OFIISI wa poliisi n’omukuumi w’ekitongole ky’obwannannyini bakwatiddwa ku by’omuliro gw’e Makerere.

Chameleone (ku ddyo) yali ne Bobi Wine.

Chameleone yeekokkola aba B...

ABASUNSULA akamyufu mu kibiina kya NUP ekya Bobi Wine basudde Jose Chameleone okwesimbawo ku kya Loodi Meeya wa...