TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Abakulembeze b'abakyala mwetabe mu misomo gy'okwekulaakulanya

Abakulembeze b'abakyala mwetabe mu misomo gy'okwekulaakulanya

Added 4th October 2019

ABakulembeze b'abakyala mujjumbire emisomo nga bwe mukubiriza ne be mukulembera muleme okweyagaliza mwekka

Ebimu ku bintu ebikolebwa abakyala

Ebimu ku bintu ebikolebwa abakyala

Bya Joanita Nakatte

Ssentebe w'abakyala mu disitulikiti y'e Mukono, Esther Baroma Nakyazze akunze abakulembeze b'abakyala mu bitundu ebyesudde ekibuga kino okwagazisa bakyala bannaabwe emisomo egy'enjawulo egitegekebwa era egiyinza okubayamba okufuna obukugu mu bye babeera basazeewo okukola mu kaweefube gwe balwanirira ow'okwegobako obwavu.

Bino abyogeredde mu lukiiko lw'abakulembeze b'abakyala okuva mu byalo eby'enjawulo mu disitulikiti y'e Mukono eyatudde ku kitebe kya munisipaali eno mwe bakung'aanidde okulonda obukulembeze bwa SACCO yaabwe n'okwekubamu ttooki okukola ennongoosereza mu bikyabalemye okutuukiriza.

 sther aroma eyakubirizza abakyala obuteeyagaliza bokka Esther Baroma eyakubirizza abakyala obuteeyagaliza bokka

 

Baroma agambye nti, abamu ku bakulembeze b'abakyala mu byalo naddala ebyesuudde ekibuga mukono basuulirira obuvunaanyizibwa bwabwe nga kye kimu ku bikyasinze okulemesa pulojekiti z'abakyala okuyitimuka n'okukulaakulana.

"Abakulembeze mmwe mpagi egenda okuggya bakyala bannamwe mu bwavu naddala mu byalo, abakyala baabalonda nga babeesize nti mujja kubaako ettoffaali lye mubongerako ekintu ekikyabalemye. Mweggyeemu omutima ogw'okweyagaliza mwekka kubanga emisomo ng'egyo egitegekebwa ogisangamu bakulembeze bokka ekitali kirungi," Baroma bwe yagambye.

 ngatto ezikolebwa abakyala Engatto ezikolebwa abakyala

 

Abasabye okulambulanga ku bakyala bannaabwe okulaba ebintu bye bakola era bye basabirako ssente okulaba engeri gye babitambuza nga kino kyakuyamba bangi okusisimuka okwewala okubonerezebwa olw'okugalabanja ensimbi za Gavumenti olw'obutabaako kya mulamwa kye bazikolamu.

 bakulembeze babakyala abeetabye mu musomo okuva mu bitundu ebyenjawulo Abakulembeze b'abakyala abeetabye mu musomo okuva mu bitundu eby'enjawulo

 

Nnaabakyala w'ekyalo Nantabuulirwa mu disitulikiti y'e Mukono, Fatuma Mahuwa yasabye bakulembeze banne okukunga bakyala bannaabwe okwewala obunafu, obutafaayo n'embeera zaabwe endala ezivuddeko kanaaluzaala w'ebibiina byabwe okugwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...