TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Bannamakolero aboolesa e Lugogo beemulugunya lwa bantu butagula

Bannamakolero aboolesa e Lugogo beemulugunya lwa bantu butagula

Added 4th October 2019

Aboolesa e Lugogo beemulugunya olw'abantu abajja okulaba obulabi bye balina nga tebagula

 Minisita Amelia Kyambadde (mu kitengi) ng'ali ku mudaala gw'omukyala agatta omutindo ku nsigo n'ebirala ku mwoleso e Lugogo

Minisita Amelia Kyambadde (mu kitengi) ng'ali ku mudaala gw'omukyala agatta omutindo ku nsigo n'ebirala ku mwoleso e Lugogo

Bya Herbert Musoke

Bannamakolero abeetabye mu mwoleso gwa Bannamakolero ogwa buli mwaka mu kibangirizi ky'ekibiina ekibagatta ekya Uganda Manufacturers Association (UMA) e Lugogo gutandise na boolesa kwemulugunya ku baguyingira obutabagulaako.

 bamu ku bagwiira nga balaga ensawo ze bakola mu byayi bye baayolesezza e ugogo Abamu ku bagwiira nga balaga ensawo ze bakola mu byayi bye baayolesezza e Lugogo

 

Bw'oyingira munda olaba abantu naddala abaana b'amasomero mu bungi kyokka aboolesa bagamba nti, bano balambula bulambuzi naye nga batono abagula oba okulaba nga banadda okubagulako.

Wano minisita w'obusuubuzi, amakolero n'obwegassi, Amelia Kyambadde we yakubiririzza abantu abagenda mu mwoleso guno obutakoma ku kwolesa n'okulambula emidaala wabula okugukozesa okutondawo enkolagana ez'enjawula n'abantu abasobola okubafunira akatale k'ebyo bye balina.

 inisita yambadde ngalambula abaayolesezza ebyuma ebikozesebwa mu bulimi nobulunzi Minisita Kyambadde ng'alambula abaayolesezza ebyuma ebikozesebwa mu bulimi n'obulunzi

 

Omwoleso gwatandise ku Mmande nga October 2 gukomekkerezebwe nga October 10 ng'okuyingira kwa 5,000/- era nga bingi ebyolesebwa okutandikira ku byokulya ebigatiddwaako omutindo, ebidduka, ebikozesebwa mu kuzimba, ebyuma ebikozesebwa mu kulunda n'okulunda, ebyobulamu n'ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...