TOP

Mukozese bye muyize okukola kkampuni ezammwe

Added 24th October 2019

Abayizi ba yunivasite ya Makerere bakubiriziddwa okukozesa amagezi ge bafunye okutandika kkampuni ezaabwe baleme okunoonya emirimu

 Abayizi abaakola kkampuni ya Beautiful creations  nga balaga bye bakola

Abayizi abaakola kkampuni ya Beautiful creations nga balaga bye bakola

Bya Herbert Musoke

Abayizi bakubirizibwa okukola emikago n'abantu ssaako kkampuni ez'amaanyi okusobola okuzimba n'okutwala mu maaso okuyiiya kwabwe mu maaso okubasobozesa okweyimirizaawo nga bamalirizza okusoma.

Lt. Gen. Charles Angina, amyuuka akulira enteekateeka ya Bonnabagaggawale mu ggwanga abawa amagezi ng'abayivu babeereko bye batandikawo nga bino byakuyamba eggwanga okulwanyisa ebbula ly'emirimu n'obwavu.

Wano abayizi b'e Makerere we baayiiyirizza okukola ebisobola okutimbibwa mu mayamba, ofiisi, obulimiro bw'ebimuli awawummulirwa, ku bubaga n'ebirala okuva mu bintu ebitakyakozesebwa ng'amacupa, amasowaani agaatise, emipiira gy'emmotoka n'ebirala.

Edna Namulondo, omuyizi agamba nti batona amacupa nga bakozesa obugoye ng'ebitengi, eza langi n'ebimuli, ebigoogwa n'ebirala by'osobola okukozesa okutona ekintu okukirabisa mu ngeri ey'enjawulo era esikiriza amaaso era kkampuni yaabwe baagiyise Beautiful Creations.

Bano bakozesa gaamu okukwasa bye bakozesa ku ccupa zino olwo ne bazitunda okuva ku 10,000/- okutuuka ku 30,000/-.

Omulimu guno osobola okugukolera awaka kuba tekyetaagisa kapito munene kuba amacupa osobola okugafuna mu mikwano gyo, ebirala ng'obugoye nabyo osobola okubiyiiya olwo n'otandika.

Kkampuni eno erina bammemba mukaaga okuli abawala basatu era nga balina enteekateeka y'okutwala bizinensi eno mu maaso kuba teyeetaaga ssente nnyingi okutandika era nga balina enteekateeka y'okutandika okukola ebintu ebirala ng'okusala amacupa gano okukolamu ggiraasi ez'okunyweramu amazzi n'ebyokunywa ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...