TOP

Kabalagala gwe tukola tussaamu vanilla ne tukola ssente

Added 25th October 2019

Abayizi ba yunivasite ya Makerere bakoze kkampuni esiika kabalagala gwe bassaamu vanilla akatale ne kabalemerawo

 Bammemba be Tukatu Delicious Pancakes nga bakola kabalagala

Bammemba be Tukatu Delicious Pancakes nga bakola kabalagala

Bya Herbert Musoke

Jameima Nabukeera muyizi ku yunivasite e Makerere era mu kuyiiya emirimu egivaamu ssente gye basobola okukola nga bamalirizza okusoma ne batanoonya mirimu agamba nti, ye ne banne basiika kabalagala nga kino baakisalawo oluvannyuma lw'okukizuula nti kimu ku byokulya ebisinga okutambula ate ng'okutandika kyetaagisa ssente ntono.

"Twatandika ne kapito ataweza 10,000/-. Twagula akawagu n'amenvu ku 2,000/-, kkiro y'obuwunga bwa muwogo ku 2,000/- n'ebirala omuli butto, ekizimbulukusa, n'ebirala kyokka nga muno tusobola okuggyamu 13,600/- oluvannyuma lw'okutunda anti kabalagala waffe tumutunda 200/- buli kamu", Nabukeera bw'agamba.

 ammemba ba ukatu elicious ancakes nga bateekateeka kabalagala owokusiika Bammemba ba Tukatu Delicious Pancakes nga bateekateeka kabalagala ow'okusiika

 

Okukola kabalagala kimu ku bintu ebyangu kuba oluvannyuma lw'okufuna obuwunga n'amenvu naddala aga ndiizi, osooka n'osotta oba okuganyiga ne gagonda olwo n'otabikamu obuwunga bwa muwogo n'ossaamu n'ekizimbulukusa kyokka tokola bigumu olwo n'osala okusinziira ku nkula gy'oyagala.

Kabalagala tumusiikira ku butto okumala eddakiika eziri wakati wa ttaano ne 10 abeera amaze okuggya olwo ng'otandika kutunda. Kabalagala tomussaamu sukaali kuba kye kimukalubya. Mu ngeri y'emu osobola okumussaamu vanilla olwo n'abeera n'akawoowo ak'enjawulo akanuguuna buli amulyako ekigenda okukuyamba okufuna akatale.

Patrick Ochapet, akulira kkampuni eno gye bayita Tukatu Delicious Pancakes agamba nti olw'okuba kabalagala alabika nga bizinensi ya bulijjo, baalina okuyiiya ennyo okulaba nga bassaawo enjawulo n'okuteekawo omutindo ogusobola okusikiriza abaguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...