TOP

Obutasoma tekitegeeza kufa bwavu

Added 29th October 2019

Sisinkana Famba Mudhasi eyagaana obutasoma okumukuumira mu bwavu n'ayiiya omulimu okusinziira ku bwetaavu obwaliwo kati asekera mu kikonde

 Mudhasi ng'akanika yingini ya pikipiki

Mudhasi ng'akanika yingini ya pikipiki

Bya Stella Naigino

Oluvannyuma lw'okulemererwa okusoma, Famba Mudhasi omutuuze w'e Iganga, yasalawo okuyiiya engeri y'okutambuza obulamu.

Yalabanga abavuga bboodabooda mu kibuga e Iganga naye kwe kuyiiya okukola omulimu ogukwatagana ne pikipiki.

Ekyamwanguyira kwali kukanika pikipiki era yafuba n'ayigira ku baali bamanyi era kati mukugu.

 udhasi ngalaga amaduuka ke era naye wakolera Mudhasi ng'alaga amaduuka ke era naye w'akolera

 

Entandikwa

"Bwe namanya nti, ng'enda kukanika pikipiki, nasooka kukwana abavuga bbooda abannyamba okunjigiriza okuvuga ne ngitegeera bw'ekola nga kino baakinkolera ku bwereere era mu mwezi gumu nali njize ate abansomesa ne banzikiriza okukola nabo.

Kino kyanzigula amaaso ne mmanya nti, omuntu bw'aba akola omulimu guno alina kugukola atya era kiki ky'alina okussaako essira.

Okukola kyannyamba okufuna kapito era  oluvannyuma lw'emyaka ebiri nneetongola.

Ebinnyambye

  1. Okwekwasa Katonda.
  2. Okukola ebyo bakasitoma bye baagala.
  3. Okukuuma amazima mu mulimu.
 udhasi ku kkono ngawuliriza kasitoma byamunnyonnyola Mudhasi (ku kkono) ng'awuliriza kasitoma by'amunnyonnyola

 

By'afunye

  1. Nguze ettaka era nazimba n'amaduuka e Iganga era kwe kuli ekifo kwe nkolera.
  2. Nguze bboodabooda ne nnyongereza ku nnyingiza yange.

Abavubuka mukomye okwekubagiza wabula mukole okulwanyisa obwavu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...