TOP

Ebyokuzannyisa by'abaana mwe nfuna ssente

Added 29th October 2019

Okukola ebyokuzannyisa by'abaana kintadde ku ddaala kati nneekozesa n'okuweerera bato bange

 Nsubuga ng'alaga ekyokuzannyisa kye yakola mu kifaananyi ky'ennyonyi

Nsubuga ng'alaga ekyokuzannyisa kye yakola mu kifaananyi ky'ennyonyi

Bya Stella Naigino

Abavubuka abamu bakeera kulera ngalo nga beekwasa ebbula ly'emirimu mu ggwanga kyokka nga tebaagala kuyiiya.

Moses Nsubuga 25, yakoma mu kyamusanvu ng'ebisale bibuze ne yeekwata ku muganda we ne bagenda e Katwe ne bayiga okukola ebintu eby'enjawulo mu byuma era nga ye yakuguka mu kukola bya baana.

Yafuna omuntu eyamwesiga n'amuwa omulimu gw'okumukolera ebyokuzannyisa by'abaana mu masomero ng'amusasula musaala.

 byokuzannyisa ebirala subuga byakola Ebyokuzannyisa ebirala Nsubuga by'akola

 

Yaterekanga ku ssente ze era bwe yaweza 200,000/- yasalawo okukola ekyesuubo ky'abaana kye yatunda ku mitwalo 35, n'asanyuka era n'akola ekirala.

Yanyiikira okutuusa lwe yaweza 1,000,000/- n'asalawo okwetongola okutuusa kati.

Ayiiya ebyokuzannyisa omuli: ebyesuubo ebyefaanaanyiriza ennyonyi by'aguza ab'amasomero n'ebifo by'abaana ebisanyukirwamu n'ebirala.

By'afunyeemu

  1. Asomesezza bato be era tebatawaanyizibwa bisale bya ssomero nga ye.
  2. Aguze poloti kw'ateekateeka okuzimba.

Okusoomoozebwa

-Emiwendo gy'ebintu olumu gyeyongera ekitaataaganya ebbeeyi y'ebintu era kino kimuleetera okwetegereza engeri gy'alamulamu ebintu bye eri bakasitoma.

-Bakasitoma bwe bajja okugula, olumu basasulako ssente ntono olwo ate ne balwawo okumalayo, nga kino kisiba kapito ne kimuzza emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...