TOP

Emirimu 4 omukyala gy'akolera awaka n'ayingiza ssente

Added 30th October 2019

Giigino emirimu 4 omukyala gy'osobola okukolera awaka n'owona okusabiriza ez'akameeza

 Omukyala ng'aluka ebyokutimba ku dduuka w'atundira emipiira mu Kampala

Omukyala ng'aluka ebyokutimba ku dduuka w'atundira emipiira mu Kampala

Bya Stella Naigino

Ennaku zino buli omu alwana kweggya mu bwavu era ng'abakyala abasinga beebuuza emirimu gye bayinza okukola okuyingiza oba okwongeza ku nfuna yaabwe.

  1. Okulima enva endiirwa: Joyce Nangobi, alwanirira eddembe ly'abakyala agamba nti, okulima enva endiirwa gumu ku mirimu omukyala gw'asobola okukolera awaka n'afuna ssente nga tataddeemu kinene wadde obudde obungi.

"Omukyala alina kumanya kimu, y'engeri entuufu gy'asobola okulima enva zino, olwo n'asobola okuzifunamu. Ekyo bw'akikola, aba asobola okulima era n'afuna akatale kubanga abantu ensangi zino bazettanidde.

 nva endiirwa ngemboga osobola okuzirima awaka nofuna ssente Enva endiirwa ng'emboga osobola okuzirima awaka n'ofuna ssente

 

  1. Okwongera omutindo ku ccupa enkadde: Eccupa enkadde ozongerako omutindo ng'okozesa ebintu eby'enjawulo n'ozitunda nga eby'okutimba okulabisa obulungi awaka.

Eccupa emu osobola okugikozesaako omuguwa gumu ne langi gy'ofuuyirako nga kiwedde ng'otunda.

  1. Okukola ebimuli mu mpapula oba amawulire amakadde: Ann Zziwa ng'ono musuubuzi wa sipeeya wa mmotoka era ng'akola n'ebimuli mu mawulire amakadde agamba nti, ebimuli ebisobola okukozesebwa mu kutimba abakyala basobola okubikola mu mawulire amakadde oba mu mpapula.
 bimuli ebikoleddwa mu mpapula Ebimuli ebikoleddwa mu mpapula

 

"Omuntu ky'alina okukola, kya kufaayo kuyiga ngeri ntuufu ey'okubikolamu nga yeefunira ssente. Bino abikolera awaka ne ku mulimu mu biseera bye eby'eddembe," Zziwa bw'agamba.

4. Okwongera ku mutindo ku ngoye enkadde: Engoye enkadde omuntu asobola okuzikolamu ebisiimuula oba obugoye obw'okulinnyako ku mulyango n'abutunda ne yeefunira ssente.

Okukola kino, weetaaga kakutiya na mpiso n'obugoye obukadde.

Bino nga bikoleddwa b ulungi bisikiriza amaaso era birina akatale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...