TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Ensi kuyiiya: Wuuno nnamukadde w'emyaka 75 akuba bbulooka okukira abavubuka, akyalina sitamina!

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamukadde w'emyaka 75 akuba bbulooka okukira abavubuka, akyalina sitamina!

Added 2nd July 2020

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako kye beekolera mu bulamu.

Ggwe omuvubuka eyeekubiriza obutabeera na mirimu naddala egyo gye wasoma kuba egiriwo mukyaafu, sisinkana mukazimukulu Christine Nansubuga Lwemwa ow'emyaka 75, eyimirizzaawo obulamu bwe ku mulimu gw'okukuba bulooka.

Ono ayimirizawo famire ye, okuweerera abaana n'abazukulu n'okuyimirizaawo famire mu ngeri z'enjawulo okukakasa nti ye n'ebennyumba ye babeera mu bulamu obulungi era obweyagaza.

ENTANDIKWA Y'OBULAMU BWE

Nansubuga mutuuze we Masooli mu Kasangati Town Council mu distulikiti ye Wakiso, yakoma mu P.6  okusoma ku kyalo Masooli kwe yafunira omusajja n'azaala abaana musanvu eyafa mu 2005.

"Oluvannyuma lwa baze okufa, nalina okuyiiga ku ngeri gyengenda okweyimirizaawo n'abaana omusanvu be yandekera. Wano natandika okukola emirimu gy'enjawulo okulaba nga famire efuna eky'okulya n'okubatwala ku ssomero", Nansubuga bw'agamba.

Mu 1970 yatandika okutema amabidde ng'agagula mu byalo okusogola omwenge omuganda abangi gwe baakazzako ‘mwenge bigere'. Ono era yalinaga enva endiirwa nga muno mwe yajjanga ssente z'okumuyimirizaawo.

"Mu 1980 nakola ekirabo ky'emmere ku nkulungo y'okubbiri mu minisipaali y'e Kawempe. Mu 2000 nga baze tannafa natandika okukuba bulooka gwe nafuula omulimu n'okutuusa leero. Abantu abasinga mu kiseera ekyo bansaasiranga kyokka nga nze ndi mumalirivu era sejjusa kuba omulimu gukuumye obulamu bwange bulungi", bw'annyonnyola.  

Wadde ng'abaana be bakuze era nga basobola okumuwa obuyambi obw'enjawulo, Nansubuga akyakuba bulooka era ng'olunaku okuba 3000. Agamba nti kino akikola kuba yamanyiiga okubeera ku mulimu nga nakyo kimuyambye okwekuuma nga mugumu.

EBIRUNGI BY'AFUNYE

Ekimu ku by'asinga okwesiimisa mu mulimu gumu kwekusomesa n'okukuza abaana be nga mu kiseera basobola okumulabirira nga ng'asobola okuweerera ne bazzukulu be.

Mu bbulooka zino akozeemu erinnya era abantu ki kitundu era nga bamumanyi ng'omukazi omukadde omukozi  ng'abantu bangi naddala abakyala abamuyigiddeko nabo ne batandika okukuba bulooka nga kati tebakyasabiriza.

"Okukuba bulooka kulinga kukola dduyiro ky'agamba nti kimuyambye okukuuma omubiri gwe nga mulamu nga lw'aba takubye bulooka anafuwa nawulira nga mugonvu nnyo.

Nansubuga  waliwo lw'aba ayagala okukuba bulooka ennyingi n'afuna abavubuka ku kyalo b'asasula ssente okuzimukubirako n'okuzimupangirako tanuulu.

OKUSOMOOZEBWA

Amazzi kimu ku bimusomooza naddala mu kiseera ky'akasana kuba ekisenyi ekirinanyeewo waliwo lwe kikalira olwo ng'alina kugagula ng'ekidomola akigula 500/-. Wano bw'abulwa ssente abeera aolina okuyimiriza omulimu.

Mmotoka y'enku egula 450,000/- ng'oluusi bw'aba tazirina kimutwalira ebanga okupanga tanuulu kyokka nga bakasitoma babeera bamubuzza.

"Ettaka lye nkubamu bulooka nalyo lya kugula ng'erivaamu bulooka 1,000 ndigula 200,000/-. Enkuba bw'etonnya bulooka zonooneka nnyo", bw'agamba.

KALANTIINI TEMUYISIZZA BUBI

Pulezidenti w'eggwanga bwe yali ayimirizza emirimu egyenjawulo mu kaweefube w'okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19  ogw'okuzimba yagulekawo nga kino kitegeeza nti omulimu gwa Nansubuga gwali gukyetaagibwa kuba abazimba baali betaaga bulooka.

OBUBAKA ERI ABAGAYA EMIRIMU

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetusaako buli kimu kyokka waliwo abavubuka abatayagala kukola nga balinda kubba. "Ssente y'ekibi terimu ssannyu okujjako ebikolimo", bw'agamba.

Abakyala bangi kasita bafiirwako abaami baabwe batandika okwekubagiza n'okweyita bannamwandu wabula nga singa omuntu amalirira asobola okweyimirizaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....