TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Ekibalo ky'okufuna mu kulunda obumyu: Obumyu mukaaga bukuwa akakadde buli mwezi

Ekibalo ky'okufuna mu kulunda obumyu: Obumyu mukaaga bukuwa akakadde buli mwezi

Added 8th October 2020

OKULUNDA obumyu y’emu ku bizinensi efuna; yeetaaga ssente ntono okugitandika ate n’ekuwa mu myezi esatu gyokka.






EBYETAAGISA

·       Okuzimba akayumba a'obumyu omukaaga okubeera ennume emu n'obukazi butaano nga buli kamu kalina akasenge kaako;

Buliti obunene bwa inc4x2 za 250,000/-.

·       Akatimba k'amaaso amatono ng'akassibwa ku kiyumba ky'enkoko 300,000/-.

·       Akatimba ak'amaaso amanene ng'asiba olukomera (Mesh), 18,000/-.

·       Akatimba akasiba engalama akassibwa waggulu bando emu ku 10,000/-.

·       Emisumaali gya 35,000/-.

·       Amabaati abiri aga geegi 30 ku 30,000/- buli limu. (60,000/-).

·       Olugogo lumu olwa pulasitiika ku 28,000/-.

·       Wadde obumyu bunywa nnyo, ng'amazzi ogatadde mu kabakuli buli kamu ka 4,000/- olwo n'osaasaanya 24,000/-, olw'okukuuma omuyonjo wanditadde mu nywanto..

·       Wetaaga tanka ng'eno ya 180,000/-.

·       Payipu n'enywanto n'omukozi bimalawo 120,000/-.

·       Ebiriiro kirungi okugula eby'ebbumba ebizitowa ekimala okukakasa nti obumyu tebukalinnyako kuyiwa mmere nga buli kamu ka 4,000 olwo n'osaasaanya 24,000/-.

·       Wadde waliwo abaagala okugula obumyu obukulu, abalunzi abakugu bakuwa amagezi okutandika n'obuto obuli mu myezi esatu obw'ekulize kuba oyinza okugwa ku bulina emize ate era n'atakekkereza.

·       Buli kamyu ku myezi esatu kagula 40,000/-. Kitegeeza nti weetaaga 240,000/-.

·       Wano omugatte guba Wano omugatte wetaaga 1,289,000/-

Buli kamyu akakuze kalya 125gms ez'emmere olunaku ng'ensawo ya kiro 70 egula 76,000/-. Eno eriisa obumyu omukaaga okumala ennaku 46 nga buli lunaku bulya kkiro emu n'ekitundu.

Wabula singa obeera n'omuddo omukalu naddala ogulimu ebiriisa nga Chrolis gayana, Lab lab, Transema n'omulala gukola bulungi era emmere egenda kitono.

Okutandika okukwata ku kaasi

Ku myezi mukaaga obumyu bwo bwe wagulira ku myezi esatu, era oba osobola okutandika okutunda, kyokka naawe kyandibadde kirungi n'ogumiikiriza n'obutundira ku esatu n'ofuna kinene.

Okutwaliza awamu buli kamyu kasobola okukuwa obwana butaano buli mwezi nga kino kitegeeza ofuna abaana 25. Singa obeera wa kubutunda ofuna akakadde kamu buli mwezi.

Bikung'aanyiziddwa Herbert Musoke okuva ku Rev. Patrick Dambya, omulunzi w'obumyu e Ntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamawulire wa Bukedde Ruth Faith Nakanwagi ng'alonda e Kireka

Okulonda kwa bakansala e Ki...

OKULONDA KWABA kansala  abagenda okukiikirira  ekitundu kya Kireka ne Naalya ku district e Wakiso, kuzzeemu omukoosi...

Abaabadde bafulumya ebintu mu White House. Mu katono waggulu ye Biden ne Trump wansi ku ddyo.

Biden atandikira ku kuteree...

DONALD Trump 74 akung'aanyizzaamu ebibye n'ava mu maka g'Obwapulezidenti aga White House wakati mu kutolotooma...

Ntagali ku mukolo ogumu.

Ntagali yaani n'ebibonerezo...

NTAGALI Y'ANI 1. Yazaalibwa March 1, 1955 2. Yaweereza mu Bunyoro Kitara okuva 2002 oluvannyuma n'alondebwa...

Judith ne Rev. Tugumehabwe lwe baagattibwa mu bufumbo Obutukuvu.

Omukazi eyasudde Ntagali yaani

OMUKAZI aleetedde ebizibu Ssaabalabirizi eyawummula Stanley Ntagali ye Judith Tukamuhebwa abeera mu kibuga Mbarara....

Ono ekifaananyi kye akifulumizaawo.

Bakuba ebifaananyi ne babyo...

ENKOLA y'okukubisa ebifaananyi ne bimala wiiki ate olumu bigenda okudda nga tebyavaamu nga bwe byali bisuubirwa...