TOP

Okufuna ssente mu kwongera omutindo ku nnyaanya

Added 11th October 2020

Okufuna ssente mu kwongera omutindo ku nnyaanya

Kino kisobola okukolebwa buli ayagadde kubahnga kyetaagisa ssente ntono ddala.

Wadde ng'ennyaanya kimu ku birime ekifuna amangu, naawe atazirima osobola okuzifunamu ng'ozongerako omutindo ng'okolamu Tomato soosi.

·       Wetaaga sseppiki mw'ogenda okufumbira ng'eyinza okugula 100,000/-

·       Ssigiri ennene ey'okufumba egula 50,000/-

·       Sseppiki endala mw'onaawoleza 100,000/-

·       Akambe 2,000/-

·       Emmeeza 50,000/-.

Omugatte 320,000/- nga bino obyetaaga gusooka.

Ø Amanda ga 20,000/-. Olina okufumba okumala eddakiika 30 okutuusa ku 90.

Ø Obucupa buli kamu 300/-, bw'obeera okoze 50 wetaaga 15,000/-.

Ø Eddagala eryoza n'okutta obuwuka 10,000/-

Ø Ebirungo ng'enniimu, obutungulu, katunguluccumu n'ebirungo ebirala 10,000/-. Bino bimuyamba okuwagaala nga tayonoonese.

Ø Gula ennyaanya mu kkiro nga buli emu ya 1,500/-. Bw'ogula kkiro 15 kitegeeza nti ogenda kusaasaanya 22,500/-. Omugatte 77,500/-.

v Muno muvaamu obucupa 50 obwa 300ml nga buli kamu katundibwa 3,000/- n'ofuna 150,000/-.

By'olina okwetegereza:

·       Bw'ogulira mu kidibo ofunamu nnyo

·       Bw'oyongeramu ebirungo nga kaamulali oyita ku banno abalala

·       Eccupa gy'okozesa eyinza okukwawula ku balala

·       Akatale kanoonyeze mu baliraanwa

·       Osobola bulungi nnyo okugukola ng'omulimu ogwongereza ku mulala gw'oba olina kubanga gutwala akaseera katono ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...

Biden n'embwa ye.

Biden aleese embwa ze mu Wh...

JOE Biden 78, akomezzaawo akalombolombo ka bapulezidenti ba Amerika ne ffamire zaabwe okubeera n'embwa oba ebisolo...

Abakyala nga basanyukira Ashraf Nasser owa NRM awangudde ekya meeya wa jinja Southern division.

Owa NRM awangudde obwameeya...

ASHRAF Nasser ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) awangudde ekifo kya Meeya wa Jinja Southern Division....

Nakidde n'abawagizi be nga b'atabuse.

Bamuwadde fotokopi eriko eb...

Wabaddewo olutalo mu kulangirira obululu mu zooni ya Kironde e Kabowa,  mu munisipaali y'e Lubaga, omu ku beesimbyewo...