TOP

Okufuna obukadde 22 mu myezi ena okuva mu butungulu

Added 11th October 2020

Okufuna obukadde 22 mu myezi ena okuva mu butungulu

Ø Yiika okugirongoosa kirungi n'okozesa tulakita kuba ettaka lyetaaga okuba nga liyiikayiika era nga ggonvu kuba emirandira gy'obutungulu minafu. Nga yiika eyinza okugirimira 150,000/-.

Ø Weetaaga ensigo y'omulembe kkiro emu ku 750,000/- oba kakadde.

Ø Olina okussaaamu ebigimusa by'obusa loole musanvu nga buli emu ya 250,000/- n'osaasaanya 1,750,000/-.

Ø Eddagala; kkiro 10 eza mancozeb nga buli emu egula 13,000/- oba 14,000/-. Nga wano weetaaga 130,000/- oba 140,000/-.

Ø Eddagala eritta ebiwuka (pesticide), kkiro ssatu buli emu ku 60,000/-. Nga wano weetaaga 120,000/-.

Ø Eddagala eriwonya nga waliwo obulwadde (curative), kkiro bbiri buli emu ku 60,000/- nga wetaaga 120,000/-.

Ø Ekijimusa kya NPK kkiro 80 ku 3,000/- buli emu olwo nga wetaaga 240,000/-.

Ø Can kkiro 80 ku 3,000/- buli kkiro nga wano wetaaga 240,000/-.

Omugatte 3,500,000/-

Muno okungulamu ttani 15-20 nga buli kkiro ya 1,500/-. Wano obeera ofuna 22,500,000 oba obukadde 30.

By'otalina kubuusa maaso

·       Oteekwa okukebera ettaka okuzuula oba linaddamu obutungulu, bwe libaamu ekibulamu abakugu bajja kukuwa amagezi

·       Oteekwa okumanya sizoni entuufu okusinziira ku katale

·       Oteekwa okumanya sizoni mu mbeera y'obudde

·       Funa ensigo entuufu

·       Funa ebijimusa n'eddagala ebituufu.

·       Eriiso lisse ne ku katale ak'ebweru.

Bikung'aanyiziddwa Herbert Musoke okuva ku Davis Kanyesigye owa House of seeds

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...