TOP

Okukola ssente mu kulunda embizzi

Added 11th October 2020

OKULUNDA embizzi bizinensi ekla ssente era eyettaniddwa abangi mu nsangi zino, kyokka ng’abagifunamu ekinene batono. Olina okumanya bye weetaaga okusobola okugiddukanya nga bizinensi mu ngeri ey’enjawulo esobole okukugaggawaza.




Bino bye weetaaga okulunda embizzi

Okuzimba ennyumba ya  fuuti 9 ku 11.

§  Bulooka 500 ku 110/- buli emu, wetaaga 55,000/-

§  Omusenyu emmotoka emu ku 100,000/-

§  Amayinja kitundu kya mmotoka ku 75,000/-

§  Sseminti ensawo 14 ku 28,000/- buli nsawo nga ze 392,000/-

§  Emiti gya kalittunsi 6 ku 6,000/- buli gumu nga wano weetaaga 36,000/-

§  Emisumaali kkiro emu ku buli inc Inc3 - 5 kiro ssatu ku 5,000/- buli emu (15,000/-), katiko ku 7,000/-. Awamu 22,000/-.

Oluggi lumu ku 50,000/-

v  Omugatte 730,000/-. Obugazi bwe bumu bwe weetaaga ku nnume nga kino kitegeeza nti weetaaga 1,460,000/- okutandika n'embizzi bbiri.

Embizzi

§  Gula embizzi z'olyo ku mwezi 2-3 ku 150,000/- awo n'obeera nga weetaaga 300,000/-. Bw'obeera ogula ya kuzaala baana goberera amabeere g'erina.

§  Okumala  emyezi ebiri egenda kulya kitundu kya kkiro olunaku, nga buli kkiro eri ku 700/-. (wano osaasaanya 21,000/- olwo ebbiri zirya 42,000/-).

§  Emyezi esatu egiddako zirya kkiro emu buli lunaku nga wano zibeera ziridde 63,000/-.

§  Ku myezi mukaaga, wano ebeera etuuse okuwaka,  wano enkazi erya kkiro bbiri n'ennume erya kkiro nga wetaaga 63,000/- buli mwezi okumala emyezi esatu  gwe mugatte ogwa 189,000/-

Bw'emala okuzaala erya kkiro ssatu okumala omwezi gumu n'ekitundu ate ennume emu nga wano zirya 126,000/-.

Omugatte 720,000/- olwo bw'obeera otandika weetaaga 2,180,000/- okutandika n'embizzi bbiri okuli enkazi n'ennume.

Embizzi ekuwa abaana 10 okutwaliza awamu nga bw'obeera otunze ku 150,000/- buli emu, ofuna 1,500,000/- ate ng'embizzi ezaala emirundi ebiri omwaka olwo n'ofuna obukadde busatu. Ate ku myezi musanvu embizzi ebeera etuuse okusala ennyama ng'etundibwa ku 500,000/- okudda waggulu, kuba bw'eba eriisiddwa bulungi eba esobola okuzitowa kkiro 60 n'okudda waggulu.

By'olina okwetegereza:

·       Kikulu nnyo okumanya n'okulonda olulyo olutuufu

·       Oteekwa okusalawo oba oyagala za nnyama oba kuzaala

·       Oteekwa okufuna emmere entuufu

·       Oteekwa okumanya akatale gye kali

·       Oteekwa okusomesebwa nga tonnatandika.

Bikung'aanyiziddwa Hebert Musoke okuva ku Patrick Matovu omulunzi era omusomesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabilah ne Lukwago

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Ba Puliida ba Lukwago nga bannyonnyola

Ebya Bobi Wine okumusibira ...

Bobi Wine ne mukyala we Barbra Kyagulanyi Itungo batutte amagye ne poliisi mu kkooti olw'okubaggalira mu maka gaabwe...

Laura Kanushu.

Abaliko obulemu ku mibiri b...

ABANTU abalina obulemu ku mibiri gyabwe beetabye mu kulonda kw'ababaka baabwe abanaabakiikirira mu Palamenti. Okulonda...

Ab'eddembe ly'obuntu bayise...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti babesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda...

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'alonda akalulu ka Mmeeya ne ba kansala

Ebyavudde mu kalulu ka Buga...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti ennonda abantu ba Buganda gye balonzeemu mu kalulu k'Obwapulezidenti...