TOP

Yeevuma ekitiibwa ekimutambuza mu matulutulu

Added 23rd November 2014

ABAZAALA abalongo bazaale, si kakubeera Ssaalongo, omusajja nga mbonyebonye n’abaana bukya bazaalibwa kuno kuwalampa miti,zino njuki kunnuma, kiki kyo!

ABAZAALA abalongo bazaale, si kakubeera Ssaalongo, omusajja nga mbonyebonye n’abaana bukya bazaalibwa kuno kuwalampa miti,zino njuki kunnuma, kiki kyo! Ssaalongo bw’atyo bw’azikubyemu ne zaaka oluvannyuma lw’okubonaabona mu kkubo ng’agenda okufuna amannya g’anaatuuma abalongo.

Twaleka atuuse e Mityana nga takisi emutadde wala ne ppaaka, okuva wano, Ziraba yalina okugenda e Buswabulongo anoonye jjajja ow’olunyiriri, muzeeyi Sserunjogi amuwe amannya ag’okutuuma abalongo.

Essuubi ery’okuddayo e Bulemeezi lyali limuweddemu olw’obudde obwali buyise ennyo ng’ate ne kye yagenderera tannakitandikako. Munywanyi we gwe yali alinamu essuubi okumuyamba, kabekasinge amusuze n’okumusuza yamuleka anywa kasoda bwe yeetooloola emmanju teyadda ng’awoza seeteekera bantu ba kunzimbirira kabulengane mikwano. Essaawa zaali zirumye ekkumi n’emu n’ekitundu.

Ssaalongo Ziraba nga mukwano gwe amaze okumuleka mu kya Godino-ekikuubo, yeeyongera okweraliikirira nga buli gw’atunulako amaaso gamutya.

Oluvannyuma yakwata katakisi akali ku tawunisaaviisi ne kamutwala mu ppaaka era ng’eyo gye yafunira booda emutwala e Buswabulongo.

Eky’omukisa abantu muzeeyi Sserunjogi baali bamumanyi wabula baamutegeeza nga bwe yali atambuddemu okumala wiiki nnamba ng’awaka oluggi luliko kkufulu. “Muzeeyi oyo okumulaba ojja kuba wa mukasa nnyo awaka we engeri gy’aliwo obw’omu tatera kubeerawo, essaawa yonna waba wasibe,” omuntu omu bwatyo bwe yategeeza Ziraba.

Wadde nga yategeezebwa bwatyo ebikwata ku muzeeyi, yafuba nnyo akawungeezi ako okutuuka awaka alabewo. Omuntu omu yamutuusiza ddala awaka awataali kigere kya muntu nga n’oluggya lutandise okumeramu omuddo.

Okuva wano yanoonya wa kusula, kyokka nga bwe bagamba nti bwe bukya si bwe buziba ne musajja wo Katonda yamuwandako eddusu bwe yasisinkana ssemaka omu eyeewaayo okumusuza ng’amaze okumunnyonnyola ebimukwatako. Mu ngeri y’emu, n’ono muzeeyi Sserunjogi yali amumanyi era nga ba kinywi.

Ssemaka ono ensonga ya Ssaalongo yamukwata omubabiro n’agezaako okunoonya abaali bamanyi amayitire ga Sserunjogi.

Essimu okuva e Bulemeezi zaali zivugira kumukumu nga zimubuuza ky’aliko anti nabo baali beeraliikirivu. Bajjajja baalugera nti ezinunula omunaku, Katonda azitunga kiro. Ssemaka ne Ssaalongo baba batambuddeko akawungeezi ku kyalo gye baagwira ku muntu omu eyasanyukira ennyo ssemaka ne bagwahhana mu bifuba nga Ssaalongo abataddeko abiri.

Omuntu ono ye yali muzeeyi Sserunjogi eyali yaakatuuka ku kyalo nga n’awaka tannatuuka. Yali ava Kyaggwe mu nnyimbe z’Abolugave.

“Mutabani ono anoonya ggwe n’ewuwo yatuuse dda nga toliiyo, alina ensonga ze nkulu era Ssaalongo mulamba ne bw’omulaba awo. Ssemaka amwanjudde.

KO SSERUNJOGI: Mutabani bweza wabula kankuleke osule ewa sseruganda ono ensonga zo tuziyingiremu enkya.
Kiki ekyabaawo?

 

Yeevuma ekitiibwa ekimutambuza mu matulutulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...