
“SSEKUKKULU nga bw’ewedde kati tutandikire we twakoma ku ky’okubatiza abaana, wabula faaza yennyini agaanyi amannya amatuumirire nga tegalina makulu gonna mu ddiini.”
Ebyo Ssaalongo Ziraba by’afuuye Nnaalongo ng’avudde mu kigo e Katikamu gye yagenda okukola ku by’entegeka y’okubatiza abalongo.
Olw’okwagala okusanyusa jjajja w’abaana, Ssaalongo yasalawo Nakato atuumibwe Christina kubanga lye yali alonze.
Nnaalongo ng’ategedde amannya ge bwe gagaaniddwa yasala amagezi ag’okweroosa ng’ayeeya amannya Diana ne Dora.
Akawungeezi ako yeefuula alimu olusujjasujja era olwamala okunaaza abaana, awo nga ku 2:00 ez’ekiro ne yeevumba obuliri. Bwe ziwera essaawa ssatu n’ategeeza ng’omusujja bwe gweyongedde wabula nga kuno kufumba mutwe gwa kwerogozza nga bw’alinnyiddwako abakulu abaagala omwana atuumwe erimu ku mannya ge yalonda.
Ssaalongo teyategeererawo nti obulwadde bwa Nnaalongo lwali lukujjukujju. Musajja wo yapapa akawungeezi ako okunoonya eddagala, yafuna panadol nga kuno yazzaako okuyenga omululuuza, byonna bye yaleetera omulwadde abikozese omulundi gumu.
Ziba ziwera 5:00 ez’ekiro Nnaalongo n’atandika katemba we. Wakati mu tulo otupange yatandika ekirooto kye: Mwana wange Diana, gira nkuwe ebbeere, eh onsonyiwe okukuyita erinnya ly’ekikaafiiri naye ne bwe buliba ddi Diana lye linnya lyo, omukulu jjajjaawo e Kamuli lye yakulondera era sisobola kumuwakanya ku ky’aba asazeewo.
Nnaalongo olwamala okweroosa bw’atyo ne yeefuula avudde mu tulo. Ssaalongo byonna ebyali mu kirooto yali abiwulira era nga yafuna n’obweraliikirivu nti ddala nnyina, omugenzi Nfuuweeta e Kamuli ye yali ayogerera ku mukaziwe.
Nnaalongo bwe yasisimuka teyamanya nti ne Ziraba alina awantu w’ali okumpi awo ky’ava katemba we yenna amwonoona bwe yagamba: “He, bano abaagala okutuuma omwana wange Christina mbasekeredde nange bansanze ndaba, eryo erinnya ery’ekikadde ng’ani alituuma omwana kabulehhane mannya ga ddiini, tebajja kulimutuumayo.”
Ssaalongo eyali amaze okuwulira bino naye yeefuula eyeebase.
Oluvannyuma nga ne Ziraba yeefudde agolokose Nnaalongo yatandika okwererejja nga nnyazaala we bwe yamujjidde mu kirooto n’amutegeeza bingi ebikwata ku bazzukulu be, nti era bwe yatuuse ku Nakato n’amulondera n’erinnya Diana. Hu ekyo nakyewuunyizza.”
Bino byonna abyogera nga Ssaalongo Ziraba amukongooza bigere. “Maama eyafa nga tayisangako kigambo Diana mu kamwa ke wadde okukiwulira yandisobodde atya okulirondera muzzukulu we, ebyo eby’ekirooto kyo byonna bifu, ekijja kijje sigenda kubatiza Nakato linnya lya Diana. Maama ky’ayagala okukola akikole, omwana waakutuumwa Christina.
Nnaalongo: Ky’ogamba abafu tebamanya kye baagala, kale mugende n’eryammwe lye mwagala anti bagamba nti okalya dda kadda dda, tulirabira ku birituuka ku mwana. Nnaalongo akolimye oluvannyuma lwa ddiiru ye okugwa obutaka. Kiki ekyabaawo?
Linda ebijja.
Zirabamuzaale: Amaliridde ku linnya