Sisinkana Folton, omuwanguzi wa betPawa AKYASINZE. Yasiba UGX 2,000 ku mipiira 38 n’awangula UGX 110,477,322. Omugatte ogwo gwakubisibwamu emirundi ena (4), neziwera UGX 486,102,216.80; ng’eno y’ennyongeza y’obuwanguzi ya bitundu 340%.
Obuwanguzi bwa Yinginiya ono okuva e Lira BWASUKKA. Mu mipiira esatu (3) kw’ejo omukaaga (6) egyasembayo, ku kapapula ke yali asibye, PSG yawangulira ku ppenati ey’omuddakiika ey’e 87, AC Milan yawangula bweyakuba 2 ku 1, ne Real Sociedad n’ewangulira mu ddakiika ey’e 90. Folton bw’atyo bw’annyonnyola:
Bwennakizuula nti emipiira 36 nnali ngiwangudde okusinziira ku kapapula ke nnali nsibye, olwo nakkiriza nti nsobola okuwangula. Emipiira ebiri (2) egyali gisigaddeyo kwaliko ogwa AC Milan ng’esamba Verona n’ogwa Real Sociedad ng’esamba Mallorca.
Nnalaba omupiira gwa AC Milan, wabula mu ddakiika eya 55 nasalawo okugenda awaka olw’ensonga nti Verona yali ekyagwetisse.
Saamanya nti omu ku booluganda lwange yali alaba omupiira guno era ng’amanyi ne byennasibye ku kapapula.
Yang’amba nneme kweraliikirira, kubanga AC Milan yali egenda kuwangula omupiira ogwo. Saamukkiririzaamu, wabula yalemerako nti Zlatan Ibrahimovic bwaba ng’akyali ku katebe, AC Milan yali yaakuwangula.
Mu kisenge gye nnali teyanzikiriza kuwummula olw’ensonga nti yali aleekaanira waggulu nnyo kw’ossa n’okumpagira. Nakakibwa okuvaayo nemubuuza ani eyali ateebye. Nayimirira nemmutunuulira nga sikkiriza bweyang’amba nti AC Milan yafuna penati olwo Verona ne neyeeteeberamu.
Bwennakimanya nti AC Milan yali ewangudde, nnamubuuza ebyavudde mu mupiira gwa Real Sociedad, era n’ankakasa nti nayo yali ewangudde. Namugamba ekintu kimu, “Omanyi, obwavu tubwegobeddeko ddala munju eno lubeerera”.
Twafuluma mu luggya, netuyita abamu ku mikwano gyaffe n’enganda okujaguza olw’obuwanguzi buno OBW’AMAANYI.
Ng’enda kugula tulakita neeyongere n’okugula ettaka nsoboile okwenyigira mu bulimi obuvaamu ensimbi. Mu pulojekiti eno ngenda kuwa abantu abasukka mu 200 emirimu.
Bulijjo beetinga n’obwegendereza.
Beetinga n’obuvunaanyizibwa. 25+. Okubeetinga bwokwemanyiiza kwabulabe eri obwongo bwo. betPawa erina layisinsi, era eddukanyizibwa ku biragiro by’ekitongole kya National Lotteries and Gaming Regulatory Board. Ennamba ya layisinsi #24.