Maama Nnaabagereka awadde Appollo Makubuya ne Mukyala we amagezi okuwangaaza obufumbo
NNABAGEREKA Slyivia Nagginda asabye abafumbo bulijjo okulonda ebikulu byebaagala okutumbula mu bufumbo bwabwe nga byebabeera bakulembeza lwebusobola okuwangaala.
Bamakubuya nga bagabula abagenyi baabwe
Obufumbo Nnaabagereka agambye nti bulinga kisero omuli ebirungi n'okusomooza nga ku bino kyoyagala ku lw'okugenda mu maaso okwobufumbo, kyotolamu.
Apollo Makubuya ne mukyala we Anne Jjuuko
Okwogera bino abadde ku mukolo Abagole Apollo Nelson Makubuya ng'ono ye Muwabuzi omukulu mu Lubiri ewa Kabaka ne munne Ann Nakayenga Makubuya ng'ono y'akulira emirimu mu Stanbic bbanka, kwebasembereza abagenyi baabwe ku kyalo Katuulo e Mpigi mu ssaza ly'e Mawokota mu kiro ekikeeseza Leero n'abasaba bulijjo okufisangawo akadde okuva ku mirimu emingi gyebalina okunyweza famire yaabwe.
Anne Jjuuko agattiddwa ne Apollo Makubuya
Gavumenti ya Kabaka yakiikiriddwa Omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro era nga ye Muwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa, eyayagaliza abagole obulamu ate n'okuba nti bonna beefunye,okwongera okuwereeza Obwakabaka.
Apollo ne Anne
Ku mukolo guno waasoosewo okusaba kw'okwebaza Katonda nga kwakulembeddwamu Bp Hannington Mutebi ng'ono ye Mubeezi ow'obulabirizi bwa Kampala eyasabye buli muntu okufuba okutukuza obufumbo oba alina ssente oba talina nnyingi ng'ezabakungu.
Apollo ne mukyala we Anne
Bp Mutebi era yawaddeyo essaala okwebaza Katonda olw'emyaka 23 egy'obufumbo obutukuvu obwa Ssabasajja Kabaka wamu ne Nnabagereka nga gino gyaweze eggulo nga August 27 neyeebaza Katonda olw'obukulembeze bwayoleseza mu bufumbo bwaabwe buno obwekyokulabirako.
Omulangira David Wasswa ng'ayogera ku mukolo
Abagole bano baagatibwa mu bufumbo obutukuvu ku Lwokutaano August 26,2022 mu Lutikko e Namirembe ate olwo eggulo ne basembeza abagenyi baabwe ababadde abayitirivu okuva mu nsi ez'enjawulo n'ebitongole mu ggwanga
Anne ne Metron we
Maama Nnabaagereka ng'atuuka ku mukolo
No Comment