Essomero lya Namiryango Junior Boys likungubagidde Kkwiini wa Bungereza

ESSOMERO lya Namiryango  Junior Boys likungubagidde Kkwiini wa Bungereza, Elizabeth eyafudde. 

Ku kkono ye mukulu w’essomero Namiryango Junior Boys, Sr. Immaculate Nabukalu, wakati ye Ethan Charles Mufuma Kkwiini ne Moses Kibuuka ku kitebe kya Bungereza mu Uganda gye yafunira satifikeeti.
By Madinah Ssebyala
Journalists @New Vision
#Namiryango Junior Boys #likungubagidde #Kkwiini #Bungereza

Bya Madina Ssebyala

ESSOMERO lya Namiryango  Junior Boys likungubagidde Kkwiini wa Bungereza, Elizabeth eyafudde.   

Moses Kibuuka omusomesa w'Oluzungu e  Namiryango  Junior Boys   yagambye wadde ensi efiiriddwa  Kkwiini kyokka ng'essomero linyoleddwa nnyo olw'okufa kwe , kubanga omuyizi waabwe,  Ethan Charles Mufuma abadde yaakawangula  empaka za Queens Common Wearth Essay Writings Competition  2020  ezeetabwaamu  amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza era omuyizi yaziwangudde mu  2020.

Kibuuka agamba ono ye muddugavu asoose okuziwangula okuva mu 1883 bukyanga zitandikibwaawo Kkwiini Victoria, Nnaabakyala Elizabeth gwe yasikira n'ekigendererwa ky'okunyikiza abantu okusoma  n'okuwandiika Olungereza ng' erimu ku kkubo erikyusa embeera z'abantu.

                   Ethan Charles Mufuma Eyawangula Empaka Za Kkwiini Ez'okuwandiika, Kati Asomera Kings College Budo .

Ethan Charles Mufuma Eyawangula Empaka Za Kkwiini Ez'okuwandiika, Kati Asomera Kings College Budo .

 Kibuuka yakaatiriza nti  obuwangunzi  bwa Mufuma bwasanyusa nnyo  Kkwiini  ng'akyali mulamu  bw'atyo  n'asiima okusasulira Mufuuma ne kitaawe olugendo bagende bamusisinkane  mu lubiri lw'e lwe  bamunnyonnyole ebisoomoza abayizi ba Uganda, mu kuwandiika n'okusoma  Olungereza n'okulaba engeri gye bayinza okubisalira amagezi.

Agattako nti lunaku luno, Kkwiini kw'abadde agenda okukwasa Mufuma engule ya zzaabu eya 'Gold Award 'gye yawangula kyokka n'agamba nti wadde yafudde naye enteekateeka zonna zigenda bukwakku era mu November bajja kuba bataka e Bungereza.

Yayongeddeko nti  olw'ekirwadde kya COVID 19 baayimirizibwa okugenda e Bungereza, Kkwiini okumukwasa engule wabula baagenda ku kitebe kya Bungereza mu Uganda ne baweebwa satifikeeti nga mu November mwaka guno lwe banaakwassibwa engule ya Gold Award kyokka basuubira nti engeri Kkwiini gy'akisizza omukono, Kabaka wa Bungerez,a Charles ne Mukyala we Camilla be  bayinza okumukwasa  engule ya Gold Award .

Yayongeddeko nti omuyizi waabwe bwe yawangula empaka zino kyasanyusa nnyo Kwiini era  Patron w'empaka zino  n'asiima n'amusindikira omumyuka we mu mpaka zino , Camilla  n'ayogerako ne Mufuma mu yintaviyu ku mukutu gwa You Tube  eyali ku mutimbagano era mu kiseera kino enteekateeka zigenda bukwakku omuyizi waabwe asobole  okugenda e Bungereza.

Mu kiseera kino  Mufuma asoma S1. mu Kings College Budo.

Kibuuka ayongeddeko nti okuva Uganda bwe yafuna omuwanguzi mu mpaka za Kkwiini ez'okuwandiika, amasomero mangi gajjumbidde okuzeetabamu n'agamba nti yasobodde n'okulondebwa ng'omu ku basazi b'empaka zino era omwaka guno ensi okuli; Singapore, India ne Malaysia  ky'agamba nti okufuulibwa omusazi waazo  kigenda kwongera abayizi abava mu Uganda amaanyi okuzeetabamu.