Bya Madina Ssebyala
ESSOMERO lya Namiryango Junior Boys likungubagidde Kkwiini wa Bungereza, Elizabeth eyafudde.
Moses Kibuuka omusomesa w'Oluzungu e Namiryango Junior Boys yagambye wadde ensi efiiriddwa Kkwiini kyokka ng'essomero linyoleddwa nnyo olw'okufa kwe , kubanga omuyizi waabwe, Ethan Charles Mufuma abadde yaakawangula empaka za Queens Common Wearth Essay Writings Competition 2020 ezeetabwaamu amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza era omuyizi yaziwangudde mu 2020.
Kibuuka agamba ono ye muddugavu asoose okuziwangula okuva mu 1883 bukyanga zitandikibwaawo Kkwiini Victoria, Nnaabakyala Elizabeth gwe yasikira n'ekigendererwa ky'okunyikiza abantu okusoma n'okuwandiika Olungereza ng' erimu ku kkubo erikyusa embeera z'abantu.
Ethan Charles Mufuma Eyawangula Empaka Za Kkwiini Ez'okuwandiika, Kati Asomera Kings College Budo .
Kibuuka yakaatiriza nti obuwangunzi bwa Mufuma bwasanyusa nnyo Kkwiini ng'akyali mulamu bw'atyo n'asiima okusasulira Mufuuma ne kitaawe olugendo bagende bamusisinkane mu lubiri lw'e lwe bamunnyonnyole ebisoomoza abayizi ba Uganda, mu kuwandiika n'okusoma Olungereza n'okulaba engeri gye bayinza okubisalira amagezi.
Agattako nti lunaku luno, Kkwiini kw'abadde agenda okukwasa Mufuma engule ya zzaabu eya 'Gold Award 'gye yawangula kyokka n'agamba nti wadde yafudde naye enteekateeka zonna zigenda bukwakku era mu November bajja kuba bataka e Bungereza.
Yayongeddeko nti olw'ekirwadde kya COVID 19 baayimirizibwa okugenda e Bungereza, Kkwiini okumukwasa engule wabula baagenda ku kitebe kya Bungereza mu Uganda ne baweebwa satifikeeti nga mu November mwaka guno lwe banaakwassibwa engule ya Gold Award kyokka basuubira nti engeri Kkwiini gy'akisizza omukono, Kabaka wa Bungerez,a Charles ne Mukyala we Camilla be bayinza okumukwasa engule ya Gold Award .
Yayongeddeko nti omuyizi waabwe bwe yawangula empaka zino kyasanyusa nnyo Kwiini era Patron w'empaka zino n'asiima n'amusindikira omumyuka we mu mpaka zino , Camilla n'ayogerako ne Mufuma mu yintaviyu ku mukutu gwa You Tube eyali ku mutimbagano era mu kiseera kino enteekateeka zigenda bukwakku omuyizi waabwe asobole okugenda e Bungereza.
Mu kiseera kino Mufuma asoma S1. mu Kings College Budo.
Kibuuka ayongeddeko nti okuva Uganda bwe yafuna omuwanguzi mu mpaka za Kkwiini ez'okuwandiika, amasomero mangi gajjumbidde okuzeetabamu n'agamba nti yasobodde n'okulondebwa ng'omu ku basazi b'empaka zino era omwaka guno ensi okuli; Singapore, India ne Malaysia ky'agamba nti okufuulibwa omusazi waazo kigenda kwongera abayizi abava mu Uganda amaanyi okuzeetabamu.