Bya Emmanuel Balukusa in Buikwe
Abantu babiri baafiiriddewo mbulaga mu kabenje akaagudde ku luguudo oluva e Kisoga okudda e Njeru.
Akabenje kano kaagudde ku kyalo Mawoto mu ggombolola y’e Najja mu disitulikiti y'e Buikwe ku Lwokuna.
Akabenje kaabaddemu emmotoka emu eya takisi nnamba UAP313R. Okusinziira ku baabaddewo mmotoka eno yabadde eva Nkokonjeru ng’edda Najja.
Sam Lunabala, omu ku badduukirize yategeezezza ng’omugoba w’emmotoka eno bwe yabadde avuga endiima ate ng’ali ku ssimu era bw'atyo yeekanze ttipa y’omusenyu ebadde eva e Njeru ng’edda Nkokonjeru n’alemerewa, takisi n'agitomeza ekifunvu.
Abadduukirize bategeezezza ng’emmotoka bwe yabaddemu abantu bataano era nga waliwo omukyala eyategeerekese nga Winnie Nakyotobwa ng’ono mutuuze w’e Najja eyafiiriddewo. Abantu abalala batemyemu bateme mu mmotoka.
Abadduukirize bategeezezza ng’ omugoba wa takisi naye yafudde ng'atuusibwa mu ddwaaliro e Buikwe..
Omwogezi wa poliisi mu Ssezibwa, Hellen Butoto yakakasiza akabenje kano wabula n’ategeeza ng' emmotoka bwe yabaddemu abantu bana bokka era nga babiri ku bano baafudde.
Butoto yategeezezza ng’ omugoba wa takisi eno bwategeerekese nga Timothy Katabira omutuuze w’e Nkokonjeru era ng'abalwadde bajjanjabirwa mu ddwaaliro lya St. Charles Lwanga e Buikwe era n’alabula abavuzi b’ebidduka bonna okugoberera amateeka g'oku nguudo.
Oluvannyuma emotoka yaggyiddwaako n’etwalibwa ku poliisi y’e Ngogwe gy’ekuumirwa.