Aba Taxi bongedde okwenyweza

EKIBIINA kya UTOF ekikulembeera omulimu gwa takisi mu ggwanga kyongedde okunywera oluvannyuma lw’eyali akulira abavubuka n’ebyemizannyo Sadat Ssemwanje  eyakulembeera ekiwaayi ekyalangirira gye buvuddeko nga bwe bwebabeekutuddeko  okwetonda n'asaba baddemu babeegatteko.

Aba Taxi bongedde okwenyweza
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

EKIBIINA kya UTOF ekikulembeera omulimu gwa takisi mu ggwanga kyongedde okunywera oluvannyuma lw’eyali akulira abavubuka n’ebyemizannyo Sadat Ssemwanje  eyakulembeera ekiwaayi ekyalangirira gye buvuddeko nga bwe bwebabeekutuddeko  okwetonda n'asaba baddemu babeegatteko.

Ssemwanje ng’ali ne banne abalala  batuuza olukiiko lwa bannamawulire nga April/07/2025 ne bategeeza ng’ekibiina kya UTOF bwe kitalina ssemateeka nga n’obukulembeze bwa UTOF tebwaliwo mu mateeka  gattako okusaba ssentebe wa UTOF Rashid Ssekindi alekulire.

Aba Taxi nga bali mu nsisinkano yaabwe

Aba Taxi nga bali mu nsisinkano yaabwe

 Amangu ddala obukulembeze bwa UTOF nga buyita mu ssentebe w’akiiko k’empiisa mu kibiina kino Sowedi Ssendagire bayita Ssemwanje mu kakiiko kaabwe akamulagira agira addako ebbali bamale okumuvunaana lwaki yatutte okwemulugunya kwe mu mawulire ng’omukulembeze kyokka nga amaanyi bulungi offiisi entuufu zalina okwemulugunyizaamu.

Ssemwanje eggulo nga July/22/2025 ng’ali wamu n’abamu kuba kakiiko k’empiisa abakulembeddwamu ssentebe waabwe Ssendagire bayisse olukungaana lwa bannamawulire ne yetondera ssentebe Ssekindi n’olukiiko lwa UTOF olufuzi n’agamba nti nga takakiddwa yakitegedde nti yakola nsobi okwanjala ensonga z’ekibiina n’okuyisamu ssentebe waabwe amaaso kyokka nga byayogera si bituufu.

                Ekituufu nali simaanyi nti UTOF erina ssemateeka omupya naye oluvannyuma lw’oku nsimba mu kakiiko k’empiisa buli kye nemulugunyako bulijjo nakitegedde nti kyali kikyamu ssemateeka wali era nafunyeko kkoopi alimu n’akawayiiro nti mmemba bw’abeera alina kye yemulugunyako asobole okusaba enongoosereza

To 9

To 9

“Nsaba okwetondera ssentebe Ssekindi bwenamusaba alekulire obwa ssentebe, ba mmemba ba UTOF  ssaako n’e bitongole byonna ebikolagaana ne UTOF  okuli KCCA etwala omulimu gwa takisi mu Kampala  ku lwange ne bannange bonna be naali nabo mu lukungana lwa bannamawulire nti musonyiwe” Ssemwanje bweyategezezza.

Oluvannyuma Ssekindi ne Ssemwanje basikaganye mu ngalo era namusonyiwa era namukkiriza okuddamu okukulira ekitongole ky’abavubuka n’e mizannyo mu takisi.

Kyokka yamusabye okubeera eky’okulabirako ng’omukulembeze wa banne abalala  ng’ayita mu makuubo amatuufu singa alina okwemulugunya kwonna kwabeera alina eri bakama be kubanga takisi erimu abavubuka bangi abalina okulabirako gwe nga mukama waabwe.