Bya Eria Luyimbazi
POLIISI eraze okutya olw’omuwendo gw’abantu abafudde obutwa okuddamu okulinnya naddala mu kiseera eky’omuggalo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti mu bbanga lya wiiki emu yokka abantu bana be bafudde oluvannyuma lw’okuweebwa obutwa ekireseewo obweraliikirivu nti abantu ab’ettima bazzeemu okubukosesa okutta bannaabwe.
“Kyeraliikiriza nti omuwendo gw’abantu abafudde obutwa gulinnye mu wiiki ewedde era nga kati poliisi etandise okunoonyereza okuzuula baani abali emabega w’ebikolwa kino bakwatibwe bavunaanibwe”. Enanga bwe yategeezezza.
Yagambye nti ku misango 64 poliisi gye yafuna okwetooloola eggwanga, abantu 50 be bafudde mu ngeri ez’enjawulo omuli okuweebwa obutwa, mu buzigu, mu butabanguko mu maka n’okutwalira amateeka mu ngalo.
Yategeezezza nti ekitundu kya Savannah omuli disitulikiti y’e Luweero, Nakaseke ne Nakasongola wewansize okubeeramu emisango n’ekuddako ekitundu kya Kampala South nga kati abaduumira poliisi mu bitundu bino batandise okunoonyereza obuzibu webuva.
Yagasseeko nti waliwo abazirakisa abavuddeyo okudduukira abantu n’emmere wabula abamu bamenye amateeka g’omuggalo ne bakungaanya abantu banti nga baagala okubawa emmere ekiyinza okuvaako okusaasana kw’ekirwadde kya Covid 19.
Yagambye nti abaagala okugaba emmere bakwatagane n’obukiiko bwassibwawo mu disitulikiti okusobola okugaba emmere eri abantu baabwe nga tebafunye kutaataganyizibwa yadde okukung’aanya abantu.