ABAKYALA balooya abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Female Lawyers' Network (FLN) basabye gavumenti, ebibiina by’obufuzi, ebitongole by’obwannakyewa n’ebirondesa okuteeka abakyala ku mwanjo ku mitendera gyonna egy’ebyobukulembeze.
Bagamba nti abakyala, abeesimbyewo, abalonzi, abagoberera eby’okulonda n’abakulembeze ku mitendera gyonna balina okubeera ku mwanjo.
Era baagala ebitongole n’amatendekero okussa essira mu kutendeka abakyala n’okubabangula mu by’obukulembeze. .
Wabula era bafeeyo okuggyawo emiziziko mu nkozesa ya yintanenti n’okutiisibwatiisibwa kw’abakazi mu by’obufuzi.
Omulanga guno gwakubiddwa abakyala abaasobye mu 300 abeetabye mu lukungaana olwategekeddwa FLN nga lwayindidde ku Hotel Africana ku Lwokutaano nga September 26. Lwabadde wansi w’omulamwa; The role of women in strengthening the Electoral process in Uganda; Threats, Opportunities and good practices. Ekivvuunulwa nti; Omugaso gw’abakyala mu kunyweza ebyokulonda mu Uganda; okutiibwatiisibwa n’enkola ennungi.
FLN kyatandikibwawo mu 2021 okutumbula abakyala bannamateeka n’okumalawo emiziziko n’obutali bwenkanya mu mulimu gwabwe.
Olukungaana luno lwetabiddwaako abakyala okuva mu bitongole eby’enjawulo okuli Uganda Electoral Commission (UEC), National Water and Sewerage corporation, Uganda Revenue Authority (URA), essiga eddamuzi (Judiciary) Insurance Regulatory Authority (IRA), National Planning Authority (NPA) ne Yunivaasite ez’enjawulo. Abalala baavudde mu bitongole by’obusuubuzi, eby’amawulire, eby’obwannakyewa, ebya gavumenti n’ebyamawanga amagatte (United Nations).

Dr. Nalunga (owokuna okuva ku kkono) ng'ali n'abamu ku balooya abeetabye mu lukungaana
Olukungaana lwakuliddwa Hon. Lady Justice Olive Kazarwe Mukwaya, akulira Uganda Judicial Service Commission (JSC) ng’ono yakiikiridde Hon. Justice Simon Mugenyi Byabakama akulira akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga. Omulamuzi Mukwaya yakubirizza abakyala bannamateeka okukulembeza obwerufu, obulambulukufu n’okugoberera amateeka agafuga omulimu gwabwe.
Ye Omulamuzi Joanita Gertrude Bushara atuula ku kakiiko akafuzi aka FLN yennyamidde olw’okubulawo omukazi yenna avuganya ku bukulembeze bw’eggwanga. Kyokka ng’abakyala bakola ekitundu kinene ku mugatte gw’abalonzi mu ggwanga. Kino yagambye nti kiviira ddala ku miziziko egiremesa abakyala okubeera mu bifo ebya waggulu gino nga kuliko obutabanguko mu maka, okutiisibwatiisibwa mu byobufuzi, ebyenfuna ebibi n’okusosolebwa.
Ye pulezident wa FLN, Dr. Joyce Nalunga Birimumaaso yeebazizza abeetabye mu lukungaana n’agamba nti lwajjidde mu biseera bituufu ng’eggwanga lyetegekera okulonda omwaka ogujja.
Dr. Nalunga agamba nti abakyala balina okutumbulwa, babangulwe era bayambibwe okusobola okubeera mu bifo by’obukulembeze. Yabakubirizza okwegatta bayingire ebibiina n’emikutu gy’abakyala basobole okukulaakulana n’okugasa eggwanga.
“Abakyala bokka abamalirivu era abeetegese be bajja okubeera mu bifo ebinene eby’obukulembeze,” bwe yagambye.
Ye Irene. T Kauma, omuwandiisi omukulu ow’omukyala w’omukulembeze era nga ye minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni yakubirizza abakyala okubeera mu bulamu obugasa era obulina omulamwa olwo basobole okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.
Kamisona wa URA akola ku byamateeka Catherine Donovan Kyokunda yajjukizza abakyala okwettanira okuwa emisolo n’agamba nti gikulaakulanya eggwanga.
Olukungaana luno lwetabiddwaako bannamateeka n’abalamuzi abalala okuli; Hon. Justice Patience T. Rubagumya, Hon. Justice Joanita Bushara, Hon. Deepa Verma, Angellina Namakula Ofwono ne Bernard Oundo ayaliko pulezidenti wa Uganda Law Society (ULS). Ne Counsel Deo Kalikumutima, Simon Peter Musangala, Usaamaa Sebuufu, Mariam Mbabaali, Maimuna Mbatudde Ssebaggala gattako Diana Nabuuso nabo baabaddeyo.