Bya Eria Luyimbazi
Ng’ebula mbale omuggalo ogw’ennaku 42 okuggwaako, poliisi ezzeemu okukola ebikwekweto mu kibuga Kampala ng’ekwata abantu abagaanyi okugondera ebiragiro bye babawa.
Bwe baatuuse ku Arua Park, baakutte omusajja Ssaalongo Joseph Abiriga. Ono kirabika abadde akola ne Nnaalongo we era olwalabye nga bba bamutwala n’asituka n’abaana nga bw’abagoberera ng’agamba nti naye bamutwalireko kubanga ye talina kyakuliisa balongo.
Wabula obuvumu bw’omukazi ono bwayambye Abiriga, eyakulembeddemu ekikwekweto ASP Muhammad Ssemambo, bwe byamusobedde n’alagira Abiriga bamute olwo omukazi n’alyoka akakkana.
Abiriga okumukwata abaserikale baamusaze ku Arua Park awaabadde wakung’anidde abantu abangi ng’abasinga obwedda beekwasa kuba nga baabadde batikka bintu ku loole.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi tegenda kusa mukono mu kugoba abantu mu kibuga yadde ng’ennaku z’omuggalo zisemberedde okuggwaako.