Bya Eria Luyimbazi
ABAVUBUKA baluse olukwe mwe bawambidde omwana ow’emyaka ena e Nansana ne bakubira bazadde be nga bamusaba obukadde 50 okumubaddiza nga mulamu.
Bino byabaddewo ku Mmande abavubuka okuli; James Mawanda ne Hakim Katongole bwe baakwataganye ne bagenda e Nansana –Wamala ne bawamba omwana ow’emyaka ena okuva ku bazadde be.
Abavubuka bano okuwamba omwana bagenze ku dduuka maama w’omwana Juliet Namaganda waakolera e Wamala ne balabiriza omwana gye yabadde azannyira ne bamuwamba ne balinya pikipiki ne babulawo.
Omwana Eyabadde Awambiddwa Ng'ali Ne Nnyina.
Omwana baamututte Busaabala. Abazadde baakwataganye ne poliisi ne babasindikirako akakadde kamu ne babakwata nga balinze obukadde 49 oluvannyuma lw’okulondoola essimu gye baakozesezza okufunirako ssente.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiraano Luke Owoyesgyire yagambye nti abavubuka bano olwabbye omwana baatandikiddewo okusaba ssente okumubaddiza.
Yagambye nti oluvannyuma lw’okufuna omusango, poliisi ng’eyita mu kitongole kyayo ekikessi yatandise okunoonyereza n’okulondoola nnamba y’essimu abavubuka gye babadde bakozesa okusaba abazadde ssente ne bagizuula nga yabadde mu bitundu by’e Busaabala ne babakwata ku Lwokusatu .
Yategeezezza nti omwana baabadde bamuteresezza omukazi Ann Maria Asiimwe nga naye poliisi yamukutte olwokubeera mu kkoobaane n’okuwamba omwana.
Baagambye nti ssente ze baabasindikidde baabadde bamaze okuzikozesa. Baatambulidde ku pikipiki nnamba UFH 412D.