Bya Eria Luyimbazi
POLIISI eggalidde omwetissi agambibwa okwekoobaana ne munne ne babba bokisi z’ebintu mu sitoowa ya mukama waabwe n’alonkoma gwe yaziguzizza.
Ramathan Kasasa akola ogw’obwetissi mu Kikuubo ng'abeera Kasubi ye yakwatiddwa ne munne Patrick Walukagga olw’okwekoobaana ne babba bokisi z’ebizigo mu sitoowa ya mukama waabwe, Frank Tukwatanise akolera ku kizimbe kya Nambuusi ne bazitunda.
Tukwatanise yagambye nti okuzuula nti Kasasa abadde amubba yamutumye mu sitoowa okuleetayo bokisi emu ey’ebizigo wabula n’akozesa olukujjukujju n’afulumya endala bbiri n’azikwasa Walukagga ne bazitwala okuzitunda wabula kkamera ze yateekayo ne zibwakata ebifaananyi .
Kasasa olutuusiddwa ku poliisi akkiriza okubba bokisi z’ebizigo mu sitoowa n’agamba nti abadde aziguza omusajja gw’amanyiiko erya Kamonde nga naye abeera mu Kikuubo nga buli bokisi bamuwadde emitwalo 20.
Yagambye nti okuzitwala abadde aziwa Walukagga n’azitwala mu kifo waaba amugambye. Walukagga yagambye nti Kasasa abadde yaakamusasulako 1,2000/- zokka
Kasasa ne Walukagga bagguddwaako omusango gw’obubbi oguli ku fayiro nnamba SD 37/03/08/2021 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.