POLIISI y’ebiduuka ng’eri wamu n’abakulira takisi mu Uganda aba UTOF balangiridde ebikwekweto ku takisi okutandika August/04/2025 abanasangibwa nga bakolera ku lw’e Masaka nga sikwebalina okukoleera bakwatibwe.
Olukungaana olwabadde olw’e buggumu lwatuziddwa mu ppaaka y’e Masaka enkadde ku Lwokubiri n’e kigendererwa okuddamu okumalawo obubenje bwa mmotoka za takisi obubadde buzzemu.
Olukiiko luno lwakubirizibwa ssentebe wa UTOF Rashid Ssekindi ekibiina ekitwala takisi mu ggwanga n’omumyuka we Musitah Mayambala nga bali wamu n’akulira ba ddereeva e Masaka Muhammada Nsamba Bijaba n’ow’e Kampala Charles Ssentongo gattako omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Masaka SP/ Twaha Kasirye.
Ssekindi yategezezza nti ng’abakulira takisi mu ggwanga , mu 2024 bavaayo ne nkola gye batandikira ku luguudo lw’e Masaka nga bamaze okwebuza ku minisitule y’ebyentambula bwe bakizuula nti omuntu atakoleera ku luguudo kyangu okukola akabenje kubanga tamanyi makoona n’awali ekinnya.
Nga buli luguudo takisi ezikoleerako zirina okubeera n’e kikuubo ekizawula ku nddala. Ab’e Masaka twabawa ekikuubo kya kyenvu n’e bulu nga bibeerako bibbiri gattako okuwandiika nnamba ya mmotoka eno ku nguulu omusaabaze gy’asobola okulaba obulungi.
“Bwetwakigezessa twalaba nga kikola bulungi era obubenje ne bukendera wabula ku ntandiikwa y’omwaka guno abamu kuba ddereeva ne basalawo okukivaako nga kati buli mmotoka eyagala ebadde etandiise okukoleerako kyokka tugenze okukizuula nga obubenje buzzemu” Ssekindi bweyategezezza
Musitafah Mayambala yagambye nti baabadde tebayinza kusiriika busiriisi nga balaba ekintu kye batandiika ate kidda emabega kwekusalawo batuuze ba ddereeva b’e Masaka mu ppaka y’e Masaka enkadde nga bali wamu n’e poliiisi ekizibu bakinogere eddagala.
Oluvannyuma ba ddereeva bakiriziganyiza nti okutandiika ne Mmande ya wiiki ejja nga August/04/2025 takisi zonna etakoleera ku luggudo lw’e Masaka enakwatibwako ng’evugirayo abasaabaze bagenda gikwata bagitwale ku poliisi eri okumpi okujjako nga wamaze kusaaba mu butongole.
Ssekindi yagambye nti wadde abamu ku ba ddereeva bagamba nti tetulina tteeka mwe tubavunaanibwa bakimanye nti buli mmotoka erina “Root Chart” mwerina okukoleera nga kino kirambikiddwa bulungi mu minisitule y’ebyentambula era okugenda okutandiikawo enkola eno empya twamala kusaba bakama baffe.
Yayongeddeko nti ssaawa yonna enkola eno bagitwala ku luguudo lwa Bombo - Ggulu High Way nga bagenda kusooka kuwandiisa mmotoka zonna ezikoleera ku luguudo luno ne ba ddereeva bakwo okutandiika ne August/2025
Oluvannyuma nga kiwedde tugenda kuwaako dayirekita wa poliisi y’ebiduuka ne minisitule y’ebyentambula kkoopi y’aba ddereeva n’e mmotoka ezikoleera ku luguudo lw’e Ggulu