Owa s3 abasirikal bamukubye lwabutayambala Helmet

Aug 26, 2021

OMUVUBUKA Andrew Walukagga omuyizi wa S.3 mu ssomero lya Nile Citizens SS e Kaliisizo mu disitulikiti ye Kyotera asimattuse okuttibwa abaserikale ba poliisi yebidduka abamukkkakkanyeeko ne bamukuba n'okumusaamba nga bamulanga butayambala Heelimenti ng'ali ku Pikipiki.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

OMUVUBUKA Andrew Walukagga omuyizi wa S.3 mu ssomero lya Nile Citizens SS e Kaliisizo mu disitulikiti ye Kyotera asimattuse okuttibwa abaserikale ba poliisi yebidduka abamukkkakkanyeeko ne bamukuba n'okumusaamba nga bamulanga butayambala Heelimenti ng'ali ku Pikipiki.

Ono abadduukirize bebamuyoddeyodde okuva mu kifo abaserikale bwebamukubidde ne bamuddusa mu ddwaaliro lya Gavumenti e Kaliisizo ng'alaajana omugongo gwebabadde basuubira nti bagumenye! Era mu ddwaaliro e Kalisizo bamugobye n'ateekebwa mu ambyulensi n'adusibwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka.

Kigambibwa nti Omuyizi ono Walukagga abadde avuga Pikpiki ng'ayolekera disitulikiti ye Rakai weyatuukidde ku kiggwa ekiri okumpi nakatawuni ke Lwanda  ne bamuyimiriza era muwanyisiganya ebigambo n'omuserikale wa Traffic eyategerekeseeko elya Mugalula, ng'ono okusinziira ku Wilber Lusiba naye abadde alina pikipiki ngaayitawo agambye nti bamusikambudde ku pikipiki naamukubawo wansi naamusambasamba okukakkanana  ngaazirise.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});